TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bajeti esomwa nga June 14 ezze n'emisolo emikakali

Bajeti esomwa nga June 14 ezze n'emisolo emikakali

Added 23rd May 2013

BAJETI y’eggwanga ey’omwaka gw’Ebyensimbi 2013/14 esomwa June 14, 2013 ku lunaku lwe lumu n’ezamawanga ag’omukago gwa East Afrika; Kenya Tanzania, Rwanda ne Burundi lwe zinaasomwa.

Egy’amafuta, boda, airtime  ne mobile money girinnye

Gavt. eggyewo omusolo ku bintu byabulijjo

 

Bya Ahmed Mukiibi

BAJETI  y’eggwanga ey’omwaka gw’Ebyensimbi  2013/14 esomwa  June 14, 2013 ku lunaku lwe lumu  n’ezamawanga ag’omukago gwa East Afrika; Kenya Tanzania, Rwanda ne Burundi lwe zinaasomwa. 

Minisita  ow’Ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Maria Kiwanuka, agenda kwanjulira Palamenti bajeti y’eggwanga ekyasinze obunene n’obukakali bukyanga  gavumenti ya NRM ejja mu buyinza emyaka 27 egiyise.

Bajeti, Minisita Kiwanuka gy’egenda okusoma esuubirwa  okuba ya buwumbi 12,005 n’obukadde 400 okusinziira ku kiwandiiko; The National Budget Framework Paper (BFP) 2013/14.

Emisolo emipya gijja

Abakugu balabudde nti bajeti ejja egenda kubeera nkakali nnyo okusinga ey’omwaka guno kubanga Minisita Kiwanuka agenda kulangirira emisolo emipya n’okulinnyisa egimu ku mikadde okusobola okuziba ettuli eryakubiddwa  mu ggwanika ly’eggwanga olw’amawanga n’ebitongole ebigabi by’obuyambi abaasazze ku Uganda ensimbi ebitundu 93 ku 100.

Ne  mu Kenya, bannansi baayo balaalikiddwa okwesiba bbiri banywere kubanga bajeti  egenda okusomwa nayo nkakali , erimu emisolo emipya mingi egissiddwaawo okusobola  okutema empenda ez’okwongera obungi ku makubo agayingiza ensimbi.

Bajeti  ya Uganda egenda kubeera ya kuluma bigigi  ng’etabwe evudde ku ky’abagabi b’obuyambi omuli amawanga n’ebitongole okusibira Uganda ekikookolo olw’obubbi n’obuli bw’enguzi  obususse mu gavumenti n’ebitongole byayo.

Okumanya ng’ebintu si birungi, ekiwandiiko ekya BFP kyalaze nti ku nsimbi obuwumbi 12,005 n’obukadde 400 gavumenti z’esuubira okusaasaanya  mu mwaka 2013/14, obuwumbi 8,843 n’obukadde 400  zokka ze zisuubirwa  okuva mu misolo.

Wabula ng’eno gavumenti bw’eteekateeka okulinnyisa n’okussaawo emisolo emipya, ekitongole ky’emisolo mu ggwanga ekya URA kyongera okusiitaana n’okukung’aanya emisolo emikadde n’embeera ey’ebyenfuna eyeeyongera okubeera enzibu buli olukya.

Gavt. yaakwewola obukadde 525

Aba URA eggulo baalangiridde   nti emisolo egyakung’aanyiziddwa mu mwezi gwa April 2013 ng’ebintu tebyabatambulidde bulungi. Obuwumbi 614, ze baali babaliridde okukung’aanya  tezaaweze. Baafunye obuwumbi 582 n’obukadde 530,  ekitegeeza nti obuwumbi 31 n’obukadde 790 zaabalemye okufuna.

Minisita Kiwanuka yategeezezza mu kiwandiiko eky’ekyama eri ababaka ba Palamenti aba  NRM nti  gavumenti eteekateeka okwewola obuwumbi 525 zokka mu mwaka 2013/14, ensimbi endala ez’okujjuliriza embalirira y’eggwanga zigenda kuva mu kulinnyisa emisolo n’okussaawo emipya.

 Kiwanuka yategeezezza ababaka nti egimu ku misolo emipya egijja kuliko; omusolo ku; Mobile Money, Pikipiki za bodaboda, amafuta, emmotoka,  amazzi, okukuba amasimu, ebizigo by’abakyala n’ebintu eby’okwenyiriza. 

Ensonda mu  gavumenti zaategeezezza nti emisolo emipya, Minisita Kiwanuka yagyanjudde mu lukiiko lwa kabinenti ne gikakasibwa baminisita. 

Mu kiwandiiko kye, minisita Kiwanuka yalaze nti omusolo ogugenda okulinnyisibwa ku mafuta ag’emmotoka gusuubirwa okuvaamu obuwumbi 72 b’obukadde 700.

Omusolo ku Mobile Money gusuubirwa okuvaamu obuwumbi 48 obukadde  200, omusolo ku bodaboda gugenda kuyingiza obuwumbi butaano ate omusolo ku mmotoka gugenda kuyingiza obuwumbi obulala 7 n’obukadde 200.

 

 

Bajeti esomwa nga June 14 ezze n’emisolo emikakali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...