TOP
  • Home
  • Amawulire
  • South Sudan erabuddwa ku kutulugunya Bannayuganda

South Sudan erabuddwa ku kutulugunya Bannayuganda

Added 30th May 2013

OMUBAKA mu Palamenti y’obuvanjuba bwa Afrika, Dennis Mukasa Mbidde abaze ekiteeso ekikugira South Sudan okwegatta ku mukago guno okutuusa ng’erekeddaawo okutulugunya Bannayuganda abakolerayo.

 

 

 

 

 

Bya AHMED KATEREGGA  NE MUWANGA KAKOOZA


OMUBAKA mu Palamenti y’obuvanjuba bwa Afrika, Dennis Mukasa Mbidde abaze ekiteeso ekikugira South Sudan okwegatta ku mukago guno okutuusa ng’erekeddaawo okutulugunya Bannayuganda abakolerayo.

Mbidde agamba nti abantu b’omu South Sudan tebandibadde bo okudda ku Bannayuganda batulugunye kuba Uganda ye yasinga okubayamba mu lutalo lw’okwenunula era nga ne bwe lwaggwa, bangi bali wano beegazaanya nga tewali abakuba ku nsolobotto.

South Sudan ne Somalia zisuubirwa okuyingizibwa mu mukago gw’obuvanjuba bwa Afrika mu November w’omwaka guno.

Sudan ye yasooka okusaba eyingizibwe nga ne South Sudan tennagyekutulako kyokka Uganda ne Tanzania nga zigamba nti egattika ebyeddiini mu byobufuzi, nti era enyigiriza abakazi.

Amawanga gannamukago kuliko; Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda ne Burundi naye nga ne DR Congo esuubirwa okugwegattako.

Ekiteeso kya Mbidde, ekiriko obujulizi okuva mu kibiina ekigatta Bannayuganda abakolera mu South Sudan, ekibiina kya KACITA (ekigatta abasuubuzi b’omu Kampala) n’ekya Uganda National Chamber of Commerce and Industry, ekigatta abasuubuzi ne bannakolero mu Uganda yonna, kisuubirwa okuteesebwako Palamenti y’obuvanjuba bwa Afrika etudde mu Kampala okuva ku Mmande okutuusa wiiki ejja.

Ensonga za Bannayuganda okutulugunyizibwa e South Sudan zaasoose mu kakiiko ka Palamenti eno, akavunaanyizibwa ku nsonga z’omukago, nako akaatudde mu Kampala era akakubirizibwa Munnakenya Abubaker Zain Abubaker.

Mbidde era yaleese n’ekiteeso ekirala ng’asaba Palamenti esse kimu eyise ekiteeso ekisaba gavumenti ya Uganda okuggya abaserikale baayo ku Monitor ne Red Pepper ziddemu okufulumya amawulire ne KFM ne Radio Dembe zidde ku mpewo.

Mu ngeri y’emu, ssentebe w’olukiiko lwa baminisita mu mukago gw’obuvanjuba bwa Afrika, Shem Bageine yayanjizza etteeka erikugira emmotoka lukululana eziva mu gwanga linnamukago erimu okugenda mu ddala okutikka obubindo.

Yasabye basseewo ebibonerezo ebitamwenyereketerwako ku batikka akabindo.

South Sudan erabuddwa ku kutulugunya Bannayuganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...