TOP

Abantu 4 bafiiridde mu bubenje e Masaka

Added 3rd June 2013

ABANTU bana baafiiridde mu bubenje busatu obwenjawulo mu disitulikiti y’e Masaka obwabaddewo ku Ssande ku makya.

 

 

 

 

 

Bya ALI MAMBULE

ABANTU bana baafiiridde mu bubenje busatu obwenjawulo mu disitulikiti y’e Masaka obwabaddewo ku Ssande ku makya.

Mu bano mwabaddemu n’omukulu w’essomero lya Kimaanya Noor Islamic PS. Omuduumizi wa poliisi mubukiikaddyo, Ogwal Khasule yagambye nti abantu babiri okwabadde Sheikh Muhammad
Mayanja, akulira essomero lya Noor Islamic PS erisangibwa mu Kimaanya, ne Ssaalongo Jimmy Kabaabi omutuuze w’e Kabonera baafiiridde mu kabenje akaagudde e Mpugwe ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala.

Yagambye nti bano baabadde batambulira mu mmotoka ya Ipsum nnamba UAR 505M nga bava Kampala okudda e Masaka omugoba waayo ataategeerekese mannya yalemereddwa okuweta
ekkoona ne yeevulungula.

Kasula agamba nti omuntu omulala eyategeerekeseeko erya Benard Rwabushabe omutuuze w’e Wankulukulu e Kampala naye mu mmotoka muno yabaddemu kyokka n’asimattuka n’ebisago eby’amaanyi era n’atwalibwa mu ddwaaliro e Masaka gyali mu kujjanjabibwa.

Mmotoka eyeevulungudde
mu kabenje.

Abaabaddewo ng’akabenje kano kagwawo baategeezezza nti omugoba wa mmotoka eno oluvannyuma lw’akabenje yalinnye pikipiki n’abulawo.

Omuntu omulala atannategeerekeka linnya yafiiridde mu kabenje akaagudde e Kinoni nga mmotoka ya Premo kigambibwa nti yayingiridde loole.

Akulira poliisi y’e Kinoni, Cpl. David Karugaba yagambye nti Premo nnamba UAM 588M eyabaddemu Abachina yavudde e Masaka ku misinde kyokka bwe baagiyimirizza okulindako ttuleera emale okusala ekkubo omugoba waayo naagaana okukkakkana ng’etomedde ttanka ya ttuleera.

Abaasimattuse akabenje kano baatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Masaka kyokka ng’abakuumaddembe baagaanyi okwatuukiriza amannya gaabwe.

Okusinziira ku Ogwal, omuntu owookuna ye yalinnyiddwa loole eyabadde etambulira mu bisubi ku mwalo gw’e Lambu e Bukakkata nga kigambibwa nti ono yabadde yeebase mu bisubi.

Abantu 4 bafiiridde mu bubenje e Masaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....