TOP

Omusajja sobezza ku bbujje

Added 10th June 2013

OMUSAJJA omugwenyufu akkakkanye ku bbujje ery’omwaka gumu n’alisobyako. Godfrey Kinaalwa (waggulu), omutuuze w’e Ndeeba mu Tomusange zooni ye yakoze ekikolwa kino.Bya Eria Luyimbazi  

OMUSAJJA omugwenyufu akkakkanye ku bbujje ery’omwaka gumu n’alisobyako.

Godfrey Kinaalwa (waggulu), omutuuze w’e Ndeeba mu Tomusange zooni  ye yakoze ekikolwa kino.   Jjajja w’omwana (Christine Naggayi) yategeezezza nti Kinaalwa asula ku muliraano gwabwe yabadde azannyisa omwana ono nga bw’amusitula mu bbanga kyokka bwe yalabye nga tewali amulaba n’amusobyako.  

“Nabadde mu nnyumba ne ndaba Kinaalwa ng’azannyisa omwana  amubuusa mu bbanga naye nagenze okuddamu okulaba omwana ng’alina omusaayi mu ngalo ne ndowooza nti osanga ggirita y’emusaze kyokka n’agenze okulaba ng’ate guva mu bitundu bye bya kyama ate nga ne Kinaalwa talabikako,” Naggayi bwe yagambye.

Omutuuze Hajati Zamu Namakula yagambye nti oluvannyuma lwa Kinaalwa okusobya ku mwana, yadduse wabula n’akomawo akawungeezi abatuuze ne bamukwata era poliisi n’eyitibwa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Ibin Ssenkumbi yategeezezza nti omusawo wa poliisi yakakasiza nti omwana ddala yasobezeddwaako, entegeka ne zikolebwa okutwala Kinaawa okukeberebwa omusaayi okuzuula oba aliana akawuka ka siriimu n’okumukebera omutwe. Yaguddwaako omusango gw’okusobya ku mwana ku fayiro SD: 30/06/06/ 2013.

Omusajja sobezza ku bbujje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasumba nga banyokeza akabaani okwetoloola mulambo gwa Ssaabasumba

Fr. Ssajjabbi annyonnyodde ...

OMUSUMBA Severus Jjumba bwe yabadde tannatandika Mmisa ya kusabira mwoyo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga...

Kalidinaali Wamala

Kalidinaali Emmanuel Wamala...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala akungubagidde Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga eyamuddira mu bigere  n'alaga ennyiike...

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Ssaabasumba Dr .Cyprian Kizito Lwanga ziwedde, olukiiko oluzikolako bwe lutegeezezza ng'...

Obutebe nga butegekeddwa ku Lutikko e Lubaga awagenda okuziikibwa Ssaabasumba Lwanga (mu katono) enkya.

Enteekateeka z'okuziika Ssa...

ENTEEKATEEKA z'okuwerekera Dr. Cyprian Kizito Lwanga abadde Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala zigenda mu...

Todwong ng'ayogera eri ababaka abalonde olwaleero.

Ababaka abayonsa bagaaniddw...

ABABAKA abayonsa bagaaniddwa okwetaba mu lusirika lw'akabondo ka NRM aka palamenti enkya  e Kyankwanzi, wabula...