TOP

Pulezidenti Uhuru ne Kagame bakyadde mu Uganda

Added 25th June 2013

ENKYA ya leero, Bapulezidenti basatu; Uhuru Muighai Kenyatta owa Kenya, Paul Kagame owa Rwanda ne Yoweri Museveni basuubirwa okwogerera mu lukung’aana lwa bannamawulire olw’awamu.



Bya AHMED KATEREGGA

ENKYA ya leero, Bapulezidenti basatu; Uhuru Muighai Kenyatta owa Kenya, Paul Kagame owa Rwanda ne Yoweri Museveni   basuubirwa okwogerera mu lukung’aana lwa bannamawulire olw’awamu.

Kino kiddiridde Uhuru okutuuka kuno eggulo ku bugenyi obutongole obw’ennaku essatu ng’ayaniriziddwa n’essanyu lingi, ate nga Pulezidenti Kagame asuubirwa okutuuka enkya ya leero.

Pulezidenti omugole, yazze n’abakungu abawerako era ennyonyi entongole olwamaze okumutuusa ku kisaawe e Ntebe ku ssaawa 11.00 ezakawungeezi n’ayolekera amaka g’obwapulezidenti gye yayaniriziddwa mukulu munne Pulezidenti Museveni. Minisita wa Uganda ow’ensonga ez’ebweru Mw. Sam Kuteesa naye yabaddewo.

Pulezidenti Uhuru yakyaddeko n’e Tanzania, South Sudan, Ethiopia, South Africa ne Bungereza. Omusango ogumuvunaanibwa n’omumyuka we William Ruto mu kkooti y’ensi yonna gumuwuuba era ng’omukago gwa Afrika mu lukiiko lw’abakulembeze olwabaddewo mu May, gwasabye abakulu bombi baleme kuwozesebwa mu kibuga Hague ekya Netherlands, wabula bawozesebwe ku butaka e Kenya oba ku muliraano mu kibuga Arusha ekya Tanzania.

 

Pulezidenti Uhuru ne Kagame bakyadde mu Uganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Bbosa owa Ebonies

Bannange nkyali sitede sinn...

Munnakatemba omututumufu Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa owa Ebonies avuddeyo n'asambajja ebigambibwa nti...

Munnamateeka Nalukoola

Looya avuddeyo n'awagira N...

Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo n'awagira Magie Kayima (Nabbi Omukazi) okusaba obukadde obusoba...

Isma ayogedde ku bulwadde b...

Isma ayogedde ku bulwadde obuluma Sheikh Muzaata,  Loodi meeya Lukwago n'ebyobufuzi ebyenjawulo mu ggwanga.

Bobi Wine nga yaakatuuka e Buliisa.

Bobi alaze bw'agenda okugab...

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu ' ‘Bobi Wine' asuubizza ab'e Bunyoro nti ng'afuuse Pulezidenti wa Uganda, abantu abagobeddwa...

Bannakibiina kya FDC abakulemeddwaamu Amuriat (ddyo), Birigwa, Nandala n’abalala nga bakwasa Atuha ebirabo.

Amuriat asuubizza ab'e Buny...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku bwa Pulezidenti asisinkanye abakungu mu bwakabaka bwa...