TOP

Palamenti evumiridde abasuubuzi ku bicupuli

Added 27th June 2013

ABABAKA ba Palamenti abasinga obungi bawagidde Minisita w’ebyobusuubuzi amakolero n’obwegassi, Amelia Kyambadde olw’okussaawo enkola ey’okukebera ebyamaguzi nga tebinnava gye biragiriziddwa okwewala ebicupuli kyokka ne bamusaba afube okulaba ng’ategeeragana n’abasuubuzi bayimirize akeediimo kuba ab


Bya AHMED KATEREGGA


ABABAKA ba Palamenti abasinga obungi bawagidde Minisita w’ebyobusuubuzi amakolero n’obwegassi, Amelia Kyambadde olw’okussaawo enkola ey’okukebera ebyamaguzi nga tebinnava gye biragiriziddwa okwewala ebicupuli kyokka ne bamusaba afube okulaba ng’ategeeragana n’abasuubuzi bayimirize akeediimo kuba abaguzi be basinga okukozesebwa.

Kino kiddiridde Kyambadde okuleeta mu Palamenti ebyamaguzi eby’ebicupuli, omuli “paadi” z’abakyala ze yagambye nti zibasombedde endwadde, engatto ezigambulukukira mu lunaku olumu, eddagala lyazo erya layisi naye nga lireka lizikunjubudde n’eddiba, obusimu obw’omu ngalo okuzimba omwala gwe Lubigi, ne ppaaka empya.

Bakansala abalala abaalumirizza meeya kubaddeko Hawa Ndege akiikirira munisipaali y’e
Lubaga North, ono yategeezeza zi nti meeya abadde aleeta abayaaye ne bataataaganya enkiiko.

Kansala Baker Sserwamba akiikirira munisipaali y’e Makindye West yagambye nti Lukwago
yakozesa ekifo kye n’atolosa abasibe munaana kino kyaliwo bwe yalemesa kkooti okutuula mu Kisenge kya ‘City Hall’ olw’okuba kkooti baali bagiddaabiriza ng’agamba nti eno si kkooti.

Kansala Margaret Tumwesigye yagambye nti mu myaka ebiri balemedddwa okukolera
Bannakampala ng’abalemesezza ye meeya olw’obutatuuza nkiiko Kuteesa ku bizibu by’abantu ate n’okusalawo ebirina okukolebwa.

Kino kyavaako n’oluguudo lwa Kafumbe Mukasa obutakolebwa mu budde.
, obutimba bw’ensiri bwe yagambye nti bulimu eddagala ery’obutwa, fulasika eziwoza caayi, amategula, waaya z’amasannyalaze ezigaviirako okwokya ebizimbe, paasi ezikubira mu nnaku bunaku n’ebirala.

“Kati kiri eri mmwe ababaka okusalawo Uganda okusigala ng’eri bakimpe nkyekubire, buli akola ekintu ky’ekicupuli ayiwe wano olw’okuba kya layisi, abantu baffe bakigule ne bwe kiba nga kibalwaza,” Minisita Amelia bwe yagambye.

Mu baamuwagidde, mwe mwabadde Sipiika Rebecca Kadaga n’omubaka Tim Lwanga ate Kasule Ssebunnya (NRM Kyaddondo North) n’asaba Minisita amaanyi ge yaleese ku bicupuli era g’aba akozesa ne ku buveera nti buttattanye obutonde bw’ensi.


Palamenti evumiridde abasuubuzi ku bicupuli

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...