TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi bakkaanyizza ne Gavt.: Bayimirizza akeediimo

Abasuubuzi bakkaanyizza ne Gavt.: Bayimirizza akeediimo

Added 29th June 2013

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi mu KACITA bakkiriziganyizza ne gavumenti ku kuddamu okwekenneenya endagaano y'okukebera ebyamaguzi byabwe eyavuddeko okuggala amaduuka era basazeewo okugaggulawo.



Bya HANNINGTON NKALUBO

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi mu KACITA bakkiriziganyizza ne gavumenti ku kuddamu okwekenneenya endagaano y'okukebera ebyamaguzi byabwe eyavuddeko okuggala amaduuka era basazeewo okugaggulawo.

Omumyuka w'omwogezi wa KACITA, Fahad Kayondo yagambye nti bye babadde basaba gavumenti ebikkirizza era basanyuse.

‘Obuwaayiro obubadde butunyigiriza mu ndagaano eyakolebwa babukkirizza buddemu bwekenneenyezebwe.

Ssente z'engassi ebitundu 15 ku buli 100 ezibadde zigenda okuggyibwa ku musuubuzi alagirizza ebintu bye okuva nga June 1, 2013 nga tebikebeddwa ziyimiriziddwa,” Kayondo bwe yagambye.

Bino baabisazeewo mu lukiiko olwayitiddwa Katikkiro wa Uganda, Amama Mbabazi ekiro ekyakeesezza Olwomukaaga nga lwetabiddwaamu minisita w'obusuubuzi, Amelia Kyambadde, akulira ekitongole ekikola ku mutindo (UNBS) n'aba KACITA okuli ssentebe Everest Kayondo, omumyuka w'omwogezi Fahad Kayondo, Kaddu Ssentamu ne Moses Kalule.

Bino okubituukako ng'abasuubuzi beeremye okuggula amaduuka bwe baatuuzizza olukiiko ku Lwokutaano ne bagamba nti bagaggale okutuusa nga ebimu ku bye basaba babifunye.

Kayondo yagambye nti gavumenti nayo yakirabye nti endagaano gye babadde bagoberera okubasoloozaako ssente teyakolebwa mu mutima mulungi.

"Akawaayiro nga okusasulira buli kintu ekisangibwa mu konteyina nga kitankanibwa omutindo kikeberebwe mu byuma n'okubunyisa ofiisi zaabwe mu bitundu gye tusuubula " Kayondo bwe yagambye.

We batuukidde ku kukkiriziganya nga poliisi eragidde abakulembeze b'abasuubuzi okuli Issa Ssekitto, Everest Kayondo n'omugagga Godfrey Kirumira beeyanjule ku kitebe kya bambega ku misango gy'okukuma omuliro mu basuubuzi baggale amaduuka. 

Issa Ssekitto yagambye nti baayitiddwa eggulo (Ku Lwomukaaga) naye bagenda kugendayo ku Mmande. Yagambye nti baategeezeddwa nti baakumye omuliro mu basuubuzi bwe baabadde mu lukiiko e Lugogo nga bateesa.

Abasuubuzi baasalawo okuggala amaduuka ku Lwokubiri (nga June 25) nga beemulugunya ku nkola ya gavumenti okukebera ebintu byabwe bye basuubula ebweru nti tebiri ku mutindo kyokka enkola ne bagiteekamu obuwaayiro bungi.

Bagamba nti tebagaana kukebera bintu byabwe naye kye bawakanya ze ssente ze babasasuza nti nnyingi nnyo n'obukwakkulizo obuli mu nkola eno ng’omusuubuzi y'ateekwa okunoonya abamukebera n'abasasula omusolo.

Bataddewo akakiiko akatandise leero okuteesa nga katuulako ebibiina ebigatta abasuubuzi mu ggwanga okutandika okutereeza endagaano okuva leero.

Gavumenti ekkirizza obukwakkulizo bw’abasuubuzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...