TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kitooke ne pulomoota we batabuse lwa ssente za lonki

Kitooke ne pulomoota we batabuse lwa ssente za lonki

Added 1st July 2013

ENGABANA ya ssente etabudde omuyimbi Hajji Haruna Mubiru ‘Kitooke’ n’omutegesi w’ebivvulu Andrew Mugerwa owa Andy Events.Haruna yatuuse ku Hotel Explorer awaabadde ekivvulu ku ssaawa ssatu ez’ekiro n’asanga nga Andy asolooza ssente ng’ate alina abantu ababe be yabadde ataddewo.



BYA RONALD MUBIRU

ENGABANA ya ssente etabudde omuyimbi Hajji Haruna Mubiru ‘Kitooke’ n’omutegesi w’ebivvulu Andrew Mugerwa owa Andy Events.

Haruna yatuuse ku Hotel Explorer awaabadde ekivvulu ku ssaawa ssatu ez’ekiro n’asanga nga Andy asolooza ssente ng’ate alina abantu ababe be yabadde ataddewo. Kino kyamunyiizizza n’atabukira Andy n’amulumba ng’ayagala kumugwa mu bulago n’ekyaddiridde kumugobawo n’ateekawo mmotoka omwabadde Jimmy maneja wa Mesach Ssemakula amuyambeko okusolooza ssente.

Bwe yamaze okutereeza omulyango ate n’addamu okulumba Andy gye yabadde atudde nga yenna aswakidde n’ayagala okumugwa mu bulago wabula abaserikale baayanguye ne bamukwata ne bamusitula ne bamutwala. Oluvannyuma baabalagidde batuule ku mmeeza bagonjole ensonga zaabwe kubanga buli omu kirabika yabadde alina kyataddemu.

Kitooke yategeezezza nti Andy tamuguzang’ako ku kivvulu era talina buvunaanyizibwa ku kivvulu kyonna wabula azze amuyambako buyambi ng’era yamuwadde ekivvulu ky’e Mukono kyonna n’akisolooza okuggyayo obukadde bwe omukaaga bwe yateekamu.

Kitooke ng'akuba abantu emiziki

Kitooke yagasseeko nti Andy ssente ze yali alina okuteekamu z’amubula n’atandika okwetambuliza ekintu kye era kati talaba nsonga lwaki amuwa ebivvulu bibiri.

ANDY MUGERWA AYOGEDDE

Mugerwa yategeezezza nti obulango n’okutambuza ebintu byonna ataddemu obukadde 32 nti era babadde balina okugabana ebivvulu asobole okuggyayo ssente ze. Agamba nti bateesa nga Equotoria , Satellite Beach Mukono ne Explorer e Zzana bibye ate Hajji asolooze Dance Flo e Nateete, Bukenya Foundation e Luweero ne Maria Flo e Masaka ebiriyo wiikendi eno wabula bwe yalabye ng’ebivvulu bisava kwe kusalawo okuneefuulira.

‘‘E Mukono nasolooza obukadde 13 ssente zange ne zitaggwaayo ate Haruna nang’aana okusolooza ku Explorer n’ebivvulu ebisigaddeyo. Ye bw’aba agamba nti nateekamu obukadde 6 bokka, lwaki yanzikkirizza okusolooza e Mukono ng’ate yalabye ng’abantu bangi ng’era ssente zisukka mu bukadde 6 kyokka n’atafaayo’.

Abadigize nga banyumirwa emiziki gya Hajji Haruna Mubiru. Ebifaananyi byonna/RONALD MUBIRU

Akavuvung’ano kano kaatutte essaawa nga ssatu ne ssente obukadde 17 Andy ze yabadde y’akasoloozaako ne bazimuggyako. Jimmy yeegayiridde Kitooke asooke agende ku siteegi ayimbe balyoke bagonjoole ensonga. Yakkiriza n’amulagira awe Andy obukadde 2 bwe yagaanyi.

Wabula Andy atutegeezezza ku ssimu nti oluvannyuma Kitooke yamuyise ng’ekivvulu kiwedde n’amuwa obukadde 10 era kati abanja obukadde 11 nga mulimu n’amagoba z’atamanyi nti zinaamusasulwa. Kyokka yeebuuzizza nti oba talina ssente ze yateekamu, obukadde 10 Kitooke yamuwadde zaaki?

Hajji Kitooke yalinnye ku siteegi ku ssaawa mukaaga ez’ekiro ng’abadigize batandise okukoowa n’abakuba omuziki ne basiima. Ne wiikendi eno akyalinayo ebivvulu e Nateete, Luweero n’e Masaka

 

Kitooke ne pulomoota we batabuse lwa ssente za lonki

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...