TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali Minisita Nsaba Butoro aleppuka na gwa bbanja lya bukadde 50

Eyali Minisita Nsaba Butoro aleppuka na gwa bbanja lya bukadde 50

Added 2nd July 2013

KKAMPUNI y'empooza eya Kampala Financial Services Ltd ekubye eyali minisita w’empisa n’obuntubulamu;James Nsaba Buturo mu kkooti enkulu ewozesa emisango gy’ebyobusuubuzi lwa kulemererwa kusasula bbanja lya bukadde 50.Bya Florence Nangendo

KKAMPUNI y'empooza  eya Kampala Financial Services Ltd ekubye eyali minisita w’empisa n’obuntubulamu;James Nsaba Buturo mu kkooti enkulu ewozesa emisango gy’ebyobusuubuzi lwa kulemererwa kusasula bbanja lya bukadde 50.

Mu bujulizi obutwaliddwa mu kkooti, akulira kampuni eno; Deus Rutazana ategeezezza nti omukulu ebbanja lino yali alina kulisasula nga ennaku z’omwezi 24 omwezi ogwokuna omwaka guno terunnayita.

Rutazana agamba nti Buturo yagenda mu maaso n’amuwa cheque eziwerera ddala 3 wakati wa January ne April w’omwaka guno wabula okuzituusa mu bank eya stanbic nga ku account za Buturo tekuli yadde ennusu.

Kati kampuni eno eyagala kkooti eragire Buturo asasule ensimbi zino nga ateekamu amagoba ga bitundu 2 ku buli kikumi.

Omuwandiisi wa kkooti; Thaddeus Opifeni alagidde omuwaawabirwa aweeyo okwewozaako kwe mu nnaku 10 zokka okuva kati.

 

Eyali Minisita Nsaba Butoro aleppuka na gwa bbanja lya bukadde 50

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...