TOP

Bukedde Fa ma yeeyubudde

Added 6th July 2013

BUKEDDE FaMa ekoze enkyukakyuka mu mpeereza yaayo n’ereeta pulogulaamu empya n’abaweereza mu kaweefube w’okuddamu okugifuula nnamba emu mu ggwanga.

 

 

 

 

 

Bya Martin Ndijjo


BUKEDDE FaMa ekoze enkyukakyuka mu mpeereza yaayo n’ereeta pulogulaamu empya n’abaweereza mu kaweefube w’okuddamu okugifuula nnamba emu mu ggwanga.

Ng’ayanjula enkyukakyuka zino, akulira leediyo zonna wansi wa kkampuni ya Vision Group, Bill Tibingana ng’ali ne Abbey Kibirango akulira Bukedde Fa Ma, yategeezezza nti kino bikoleddwa okwongera embavu mu Bukedde Fm leediyo eng’anzi etuuka ku muntu wa bulijjo nga bamukubira ennyimba (omuziki) ssonsomola, okwogera ku bimukwatako n’okumutuusako amawulire ageegasa ng’eng’ombo empya bw’eri ‘Bukedde FM-omuziki Ssonsomola n’egulire erikugasa’.

“Okunoonyereza kwakoleddwa abakugu n’okusaba okuva mu bawuliriza baffe era y’ensonga lwaki tukoze enkyukakyuka eno nga gwe omuwuliriza tosaanye kukyusa kalimi ko kubanga tukuleetedde ekipya ssaako obuzannyo obwenjawuulo mw’ogenda okwewangulira ssente nga ‘Omubanda wa Bukedde,’ Kibirango bwe yagasseeko.

Mu pulogulaamu empya kuliko; ‘Washing Bay’ ekolebwa Bakanaabe okuli; Tica Tica, Bonitah Kibalama (Katungulu k’abaami), Simon Maseruka ne Douglas Kasozi (Mazaza) ng’eno ebaawo okuva ku Mmande okutuuka Olwokutaano okuva essaawa 9:00 ez’olweggulo okutuuka ku 1:00 ey’akawungeezi.

Mu nkyukakyuka endala, Inocent Tegusuulwa ow’emizannyo ne kazannyirizi Godfrey Ssenyondo (Godie Godie) bongeddwa ku Hellen Nakacwa (omwana w’ababi ababiri) okuvuga Pulogulamu ya Bukedde Butya etandika ku ssaawa 12 ez’oku makya okutuuka ku ssaawa 4: 00.

Bills Buttoddene yazze mu Pulogulaamu ya ‘Kasensero Count Dount’ mw’aweerereza emiziki ssonsomola mu okuva ku ssaawa 3:00 ez’ekiro okutuuka ku 4:00. Oluvaawo, Henrico Kabanda n’ayingirawo ne pulogulamu ‘Ekkwaano’ ey’abaagalana okuva ssaawa 4:00 ez’ekiro okutuuka ku musanvu.

Pulogulaamu ‘Golokoka’ ekusisimula buli lunaku okuva ssaawa 10:00 nga bukya okutuuka ku 12 ez’oku makya yaakukolebwa Moses Walugembe ng’eyongeddwaamu ebirungo omuli okukubira emiziki gy’oyagala, okukuba amasimu n’okutuusako amawulire agali mu bitundu byamwe.

Pulogulamu endala, ‘Ensi Kuyiiya’ ekolebwa Micheal Mukasa Sebowa okuva ku ssaawa 4:00 ez’oku makya okutuuka ku ssaawa 5:00 eyongeddwamu ekirungo ky’okukukubira ennyimba ezikuteeka mu mbeera y’okukola.

Pulogulaamu ‘Ekijjulo’ ekolebwa Leila Kachapizo okuva ku ssaawa 7:00 ez’emisana okutuuka 9:00 ez’olweggulo.

Ku Lwomukaaga ne Ssande ab’ebyemizannyo babaleetedde pulogulaamu empya ‘Akadirisa’ ne Innocent Tegusulwa okuva ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo okutuuka ku 10:00 ng’akusunirako ku ttiimu z’oyinza okuteekako ssente eri abbo abasiba emipiira.

Ku Ssande okuva ku ssaawa 10:00 ez’oku makya okutuuka ku 6:00, Omulangira Moses Walugembe agenda kuba akusoosootolera pulogulaamu ‘Essanyu ku Ssande” olwo Henrico Kabanda akukubira ennyimba enkadde mu pulogulaamu ‘Music Afrika.’

Bukedde Fa ma yeeyubudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...