
Bya Eria Luyimbazi ne Prossie Kalule
ABANTU 14 be baddusiddwa mu ddwaaliro e Mulago nga biwala ttaka oluvannyuma ly'ekizimbe kya kalina ekibadde kiddaabirizibwa ku luguudo lwa Nakivubo Mews okugwamu!
Bino bibaddewo ku ssaawa mukaaga ez'omu ttuntu ku luguudo lwa Nakivubo Mews mu Kampala ekizimbe ekiyitibwa Naice Time nga kisangibwa ku Plot 4/2, ekibadde kisimibwasimibwa okuddaabirizibwa bwe kitendewaliddwa ne kigwira abakozi.
Ekizimbe kibadde kiddaabirizibwa ng'ebisenge ebisinga bitemeddwa ekyaleetedde ebitundu ebirala okunafuwa ne kigwamu.
Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Kale Kayihurwa, yatuuseeko ku kizimbe kino n'ategeeza nti poliisi egenda kukola okunoonyereza okuzuula oba nnakinyini kizimbe kino yabadde alina olukusa okuva mu KCCA olumukkiriza okumenya n'okukiddabiriza
Abatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago nga taasibewo taasulewo y'ali ku mimwa kuliko; Maliamuna Nabaka ow'e Katwe ng'abadde akamula butunda bw'aguza abasuubuzi, omwana ow'emyaka ebiri Joel Mubiru, Wahabu Wasajja, Richard Kamaire, Barbara Babirye ow'e Mengo,ne Ramathan Muzoola.
Abalala kuliko Aldof Kamala , Ampairwe nga batunda by'akwewunda ebyabakazi ku kizimbe, Rogerz Ruhusha ow'e Makerere, Harriet Nassolo, Waiswa Mayiga n'omulala atannamanyika.
Abaalumiziddwa bategeezezza nti kirabika bulijjo basimulasimula ekizimbe nga payipo n'emitayimbwa byongera kulegeya ekikiviiriddeko okugwamu.
Baagambye nti ekizimbe kibadde kinyeenya emisana ttuku kyokka nga nnyini kyo tafaayo.
Ekizimbe kigudde mu Kampala ne kitta 4