
Bya FAUSTINE ODEKE
ESSOMERO lya St Peters College Tororo liggaddwa oluvannyuma lw’abayizi okwegugunga nga bawakanya okulinnyisa ebisale by’essomero.
Akulira olukiiko lw’ebyokwerinda mu disitulikiti, Damulira Kyeyune eyawadde abayizi essaawa bbiri zokka ku Lwokusatu okusibiramu ebintu byabwe okuva ku ssomero, yategeezezza nti kino bakituuseeko okusobola okukuuma obulamu bw’abayizi n’ebintu by’essomero bireme kusaanyizibwawo, kuba kibatwalidde ebbanga okuzimba essomero lino.
Yategeezezza nti abayizi ba S4 ne S6 be balina okukomawo ku ssomero nga August 12 ne 13, basobole okukola ebigezo bya mooko, ate abayizi abalala bakomewo mu September. Omukulu w’essomero, Joseph Francis Olokolo olunwe yalusonze mu muzadde omu gw’alumiriza okukuma mu bayizi omuliro.
Essomero lya St. Peters e Tororo liggaddwa