TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamateeka bagenda mu kkooti ku tteeka ly''enkung''aana

Bannamateeka bagenda mu kkooti ku tteeka ly''enkung''aana

Added 11th August 2013

BANNAMATEEKA bagenda kukuba Gavumenti mu mbuga z''amateeka nga bawakanya etteeka ly’enkung’aana eryayisiddwa mu palamenti ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde nga bagamba nti bagenda kulwanirira nfuga ya mateeka n’eddembe ly’obuntu.BYA HERBERT MUSOKE

BANNAMATEEKA bagenda kukuba Gavumenti mu mbuga z'amateeka nga bawakanya etteeka ly’enkung’aana eryayisiddwa mu palamenti ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde nga bagamba nti bagenda kulwanirira nfuga ya mateeka n’eddembe ly’obuntu.

Munnamateeka Mukasa Mbidde bwe yabadde ayogerera mu lukung'aana lw'abaamawulire ku ofiisi ye mu Kampala yagambye nti baamaze dda okukola enteekateeka okuwakanya etteeka lino wabula nga tebannaba kusalawo ku kkooti gye bagenda kutwala musango guno.

”Tetunnaba kusalawo ku kkooti gye tuba tugenda kyokka tusuubira omusango okugutwala mu kkooti etaputa ssemateeka oba kkooti y’Amawanga g’obuvanjuba bwa Africa (East African Court of Justice), era nga tugenda kukolaganira wamu ne bannamateeka okuva mu kibiina kya Pan African Law Society,” Mukasa bwe yagambye.

Mbidde yagambye nti Uganda eriko endagaano z’ebibiina ebigatta amawanga ze yassaako omukono nga tekyasobola kumala gakyusakyusa mateeka gaayo era gano ge gamu ku mateeka ge bagenda okwesigamako okukakasa nti etteeka lino lisaanyizibwawo.

 

Bannamateeka bagenda mu ku tteeka ly''enkung''aana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...