TOP

Ayokezza muganzi wa bba olweje lw'amazzi

Added 14th August 2013

OMUKAZI ow’obuggya ayiiridde muganzi wa bba olweje n’amubambula omugongo. Margaret Kemigisha 18, abeera ewa muganda we mu Katanga gwakolera ne kawoteeri k’emmere ye yakiguddeko wiiki ewedde Agnes Ntabaazi 19 bwe yamuyiiridde amazzi agookya ng’amulanga kumwagalira bba Jimmy Busingye 20 avuga bodab



Bya Eva Naluwagga

OMUKAZI ow’obuggya ayiiridde  muganzi wa bba olweje  n’amubambula omugongo. Margaret Kemigisha 18, abeera ewa muganda we mu Katanga gwakolera ne kawoteeri k’emmere ye yakiguddeko wiiki ewedde Agnes Ntabaazi 19 bwe yamuyiiridde amazzi agookya ng’amulanga kumwagalira bba Jimmy Busingye 20 avuga bodaboda ku siteegi ya Ground Zero e Wandegeya.

Ntabaazi alina olubuto olukulu nga mufumbo ewa Tumwesigye agamba nti Kemigisha abadde assusizza okumujooga nga buli bw’abeera ayita okumpi n’omuzigo gwe ng’amuvuma nti waakufa ng’azaala .

Ntabaazi nga baamuliraano ne Kemigisha asula ewa muganda we Bashemera mu Katanga Kimwanyi Zooni. Kemigisha okwokebwa yabadde ava kutwalira bakasitoma mmere,  Ntabaazi eyabadde ategese amazzi  agookya mu bbinika yagamubunduggulidde mu mugongo n’addukira ku ofiisi  y’abakulembera ekitundu.

Kemigisha bwe yagenzeeyo okuloopa n’amusangayo ne babatwala ku poliisi ya Kimwanyi.Aduumira poliisi y’e Wandegeya Julius Tusingwire yagambye nti Ntabaazi atwalibwa mu kkooti ku musango gw’okutuusa obuvune ku muntu.

Yalagidde Busingye okujjanjaba Kemigisha. Omusango guli ku fayiro SD:05/09/08/13.
 

Ayokezza muganzi wa bba olweje lw''amazzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...