TOP

Abemmundu basse Yinginiya e Kawempe

Added 22nd August 2013

Abatemu abaalumbye Kamulegeya tebalina kintu kyonna kye baatutte wabula ennyumba yonna baagitaganjudde nga balinga abaliko kye baabadde banoonya.



Bya MARGARET ZIRIBAGGWA NE JOSEPH MUTEBI


ABABBI abemmundu bataamye ne bakuba omusirikale wa poliisi amasasi agaamulumizza ennyo oluvannyuma ne bamusikako emmundu ne badduka mu kibuga emisana ttuku.

Omusirikale wa poliisi eyakubiddwa amasasi ye Tonny Omara ng’akolera ku CPS ng’asula mu nkambi ya poliisi e Kawempe.

Mu kiro kye kimu abatemu mwe baalumbidde Amos Kamulegeya 38, omukubi wa pulaani ng’abeera Kawempe–Kirokole ne bamukuba amasasi abiri mu lubuto agaamusse nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Mulago.

Abatemu abaalumbye Kamulegeya tebalina kintu kyonna kye baatutte wabula ennyumba yonna baagitaganjudde nga balinga abaliko kye baabadde banoonya.

Wiiki ewedde ababbi baamenya ennyumba ya Kamulegeya ne bakuuliita ne kompyuta ye gy’atambula nayo nga newankubadde mu nnyumba mwabaddemu ebintu ebirala tebaabikutteko.

Akulira poliisi ya CPS, James Ruhweza agamba nti abaserikale ba poliisi babiri abaabadde bakuuma ku luguudo lwa Dewinton mu Kampala wakati, baatuukiriddwa abasajja babiri abaabadde batambulira ku bodaboda wakati wa ssaawa 11.00 ne 12.00 ez’oku makya ne babasaba okugenda nabo kubanga waliwo abamenyi b’amateeka be baabadde beekengedde ku luguudo lwa Wampeewo.

Omugenzi Amos Kamulegeya

Olw’okuba waabadde walako abaserikale ba poliisi baasazeewo okulinnya bodaboda okubatwalayo.

Baabadde baakatuuka ku Wampeewo Avenue okumpi ne wooteeri Africana omu ku basirikale ne yeekengera abasajja bano era n’alagira abavuzi ba bodaboda bombi okuyimirira.

Bodaboda olwabadde okusiba omubbi eyabadde atudde embabega ku bodaboda yayanguye okuggyayo pisito gye yabadde akwese mu kikabuuti n’akuba omuserikale wa poliisi amasasi ku mutwe n’oluvannyuma n’amuggyako emmundu ye.

Emmundu eno gye yakozesezza okukuba omusirikale omulala amasasi kyokka ye teyalumiziddwa nnyo kubanga yadduse n’agwa mu mwala.

Ababbi baavuze bodaboda ne bakwata olw’e Luzira ng’abantu baagezezzaako okubalondoola kyokka ne balemererwa kubanga abasinga baabadde batidde.

Ruhweza yagambye nti poliisi eyigga ababbi bano kyokka ng’omuserikale wa poliisi mu kiseera kino ajjanjabibwa mu ddwaaliro e Mulago.

Eggulo baamututte mu ssweeta okumuggyamu amasasi mu mutwe kyokka ng’embeera ye yabadde tennaba kulongooka.

Omara amasasi gaamukutte ku mutwe ne gatwaliramu oluba era nga we yatuusiriddwa mu ddwaliro e Mulago ng’olulimi lusowoseeyo abasawo ne bamwanguyira okumussa ku kyuma ekimuyambako okussa era ne bamutwalirawo mu sweta okumulongoosa.


Abazze bakubwa amasasi:

  • August 11 2013 Godfrey Bakasengula ow’e Nateete baamukubye amasasi agaamuttidde mu dduuka lye ku bitaala.
  • August 11 2013 abazigu basse Godfrey Lutaaya omusuubuzi e Villa Maria mu Kalungu baamukubye amasasi ne bamutta.
  • June 14 2013 Abazigu baakubye Abdul Bampigga eyabadde atunda amafuta ku ssundiro lya Dawson mu Nyendo e Masaka n’omukuumi Abdullah Anguzu ne banyaga ssente.
  • May 11, 2013: omusuubuzi Muslim Kitanda yakubwa amasasi ku ggeeti y’amakaage e Nansana mu Zooni 8 ne banyaga obukadde obukunukkiriza mu 40 ze yali akung’aanyizza mu matabi ge aga Mobile Money okuli n’erya Yesu Amala.
  • April 16, 2013: Omusuubuzi Meddie Tamale ow’essomero lya City Junior ku Kaleerwe eyali owa MTN e Mukono baamukuba amasasi ng’atuuka ku ggeeti y’amaka ga nnyina Zam Zawedde mu Ntinda zooni e Sseeta n’afa.
  • March 25, 2013: Omusuubuzi Haji Mohammad Mpindi eyalina amaka e Makerere yakubwa amasasi n’aba famire ye 3 ne battibwa bwe baabazingiza ku ffaamu e Rugaaga mu Isingiro.
  • March 23, 2013: Ababbi baakuba omusuubuzi w’e Kamwokya Brave Aineamani amasasi mu dduuka mwe yali abalira ssente ne banyaga obukadde obukunukkiriza 20.
  • March 16, 2013:Amon Mwebaze ow’e Kisaasi ku dduuka lya Mobile Money baamusse ne banyaga ensimbi ate omukozi we Gloria Kekimuli n’asimattuka n’ebisago by’amasasi mu kugulu.
  • March 10, 2013: Omuzungu nannyini 4Turkeys Entebbe Derek Coggon yakubwa amasasi agaamutta nga yaakeevuga okwetuusa ku ddwaaliro lya St. Mary’s Hospital Entebbe.
  • August 24, 2012: Hajji Hussein Jjunju 38, omusuubuzi e Ssembabule yakubibwa amasasi mu kifuba ne ku mutwe n’aweebwa ekitanda e Mulago.
  • August 18, 2012: Muhammad Maganda akolera e Bugiri yakubibwa essasi mu mumiro n’aweebwa ekitanda e Mulago mu bulumbaganyi mwe battira Imam Yunusu Abubaker Madangu.
  • August 6, 2012: Omusuubuzi Margaret Nakiguli alina amaduuka g’amasimu ewa Kisekka, Mpereerwe n’e Kyebando yakubiddwa amasasi ng’atuuse ku ggeeti y’amakaage e Luteete ku lw’e Gayaaza.
  • July 13, 2012: Omusuubuzi w’ewa Kisekka Matia Ssali yakubwa amasasi bwe yali ataasa omuntu abazigu gwe baali babbira e Kawempe era n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Mulago.
  • July 10, 2012: Omusuubuzi Henry Kayiira yakubibwa amasasi ng’ava mu mmotoka ye nga yaakatuuka mu makaage e Kiboga mu Kabakanjagala Zooni.
  • July 3, 2012: Omusuubuzi William Lubega Musisi eyakazibwako erya Kitengo era nnyini dduuka lya Kamulu Traders e Kyebando ku lw’e Gayaaza yakubibwa amasasi ng’adda ewuwe.
  • July 2, 2012: Ab’emmundu baalumba edduuka lya Mobile Money e Bweyogerere ku makya ne bakuba amasasi n’okunyaga ensimbi 400,000/=
  • June 22, 2012: Haji Kiweewa Kigejjogejjo owa Prime Shoppers Supermarket e Kyanja yakubwa amasasi ne bamuttirawo.
  • June 20, 2012: Omuwala Gimuminyin Annafrida yakubwa amasasi abazigu bwe bateega takisi e Ddundu Nakasajja.
  • April 21, 2012: Sheikh Abdul Karim Ssentamu yakubwa amasasi ku luguudo William, abaamutta baali batambulira ku bodaboda.

 


 

Abemmundu basse amasasi: Yinginiya e Kawempe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Achile (owookubiri ku kkono) ng’ayogera eri bannamawulire. Asooka ku kkono ye Kyomya ate owookubiri ku ddyo ye Mandera Nsubuga.

Aba NRM basabye poliisi obu...

ABAKULEMBEZE b'abavubuka mu kibiina kya NRM mu ggwanga bawanjagidde poliisi okukomya omuze ogw'okulemesanga Robert...

Bp. Lwanga mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Nakaggwa. Mu ggomesi wakati ye Zziwa.

Bp. Lwanga avumiridde abeek...

SSAABASUMBA Dr. CyprianKizito Lwanga avumiridde abantu abeekalakaasa ekivaako okulumya abalala n'ategeeza nti balumya...

Bobi Wine ne Dan Magic mu ddwaaliro.

Omukuumi wa Bobi Wine ne Pu...

Pulezidenti w'ekibiina kya NUP alidde kkava ekintu ekibadde ng'esasi bwe kimuyise ku mutwe. Mu kiseera kino abadde...

Ivan Boogere

Yusuf Babu owa COBAP ng'atw...

Mu Afrika U20 Uganda 3-1 Kenya GGOOLO za Ivan Bogere (2) ne Kenneth Semakula zaayambye The Hippos okwesogga...

Yusuf Babu owa COBAP ng'atwalira Paul Kayondo (Lukanga) eng'uumi.

Liigi y'ebikonde ejulidde

EKIBIINA ekitwala omuzannyo gw'ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF) kisazizzaamu liigi yaakyo....