TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. egaanye okugoba omusango oguvunaanibwa pulomoota Kim ku by''enjaga ya Namubiru

Gavt. egaanye okugoba omusango oguvunaanibwa pulomoota Kim ku by''enjaga ya Namubiru

Added 27th August 2013

KKOOTI e Makindye egaanye okugoba omusango oguvunaanibwa pulomoota Kim agambibwa okutikka omuyimbi Iryn Namubiri enjaga eyamukwasisa e Japan.



BYA ALICE NAMUTEBI

KKOOTI e Makindye egaanye okugoba omusango oguvunaanibwa pulomoota Kim agambibwa okutikka omuyimbi Iryn Namubiri enjaga eyamukwasisa e Japan.

Hakim Tumwesigye abangi gwe bamanyi nga Kim ng’ayita mu munnamateeka we Kayanja yasabye omulamuzi Esat Nambyo agobe omusango guno kyokka omulamuzi ne yeerema bwe yamutegeezezza nti okusaba kwe tekulimu makulu.

Kayanja yategeezeza omulamuzi Nambayo nti guno mulundi gwa kusatu nga bajja mu kkooti kyokka ng'oludda oluwaabi lusaba omusango gwongezebweyo buli kaseera ekintu ekifiiriza Hakim emirimu gye kubanga abeera Japan era nga gy'akoleera.

Kayanja era yasabye omulamuzi Nambayo agobe omusango guno bwe yamutegeezeza nti omuyimbi Iryn Namubiri gwe bagamba nti baamutikka enjanga yavunaanibwa mu ggwanga lya Japan era ab’obuyinza munsi eno ne bakizuula nti talina musango gwonna gwe yazza , kati talaba lwaki ate bataataaganya omuntu we nga bamuvunaana emisango egyekuusa ku njaga eyasangibwa ne Namubiru.

Wabula ye omuwaabi wa gavumenti Lucy Kabahuma yamwanukudde n'ategeeza nti emisango egyaggulwa ku Namubiri e Japan kyokka ne bamwejjereza tegirina ngeri yonna gye giyinza kulemesa gino egimuvunaanibwa Kim kubanga bbo balina ensonga n’obujulizi obumuluma (Kim) era n'asaba omulamuzi agobe okusaba kwe.

Mu nsala ye, omulamuzi Nambayo yategeezezza nti okusalawo kw'e Japan tekulina ngeri yonna gye kuyinza kunafuya yadde okulemesa omusango gw’enjaga oguvunaanibwa Hakim kubanga buli nsi erina ensonga zaayo n’obujulizi bw'egenda okwesigamako, n'alagira omusango gugende mu maaso.

Kigambibwa nti Hakim ng'oluusi ategeka ebivvulu e Japan yafunira Namubiru ddiiru y’okukubirayo emiziki kyokka mu kugenda n'amutikka ebitereke mweyali akuumidde enjaga.

Namubiri yakwatibwa nga yakatonnya ku kisaawe ky'ennyonyi e Japan n’enjaga eyali esabikiddwa mu kifaananyi kya Kabaka ne Pulezidenti Museveni era n'asibwa mu kkomera okumala omwezi mulamba wabula oluvannyuma n'ayimbulwa.

Gavt. egaanye okugoba omusango oguvunaanibwa pulomoota Kim agambibwa okutikka Namubiri enjaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'ewa Kisekka bazzeemu oku...

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose ewa Kisekka nga poliisi egumbulula abasuubuzi ababadde bakedde okwegugunga nga...

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...