TOP

Agambibwa okutta nnyina bamuyigga

Added 2nd September 2013

POLIISI y’e Mityana eri ku muyiggo gwa muvubuka ateeberezebwa okutuga nnyina n’amutta n’amala n’adduka era nga mu kiseera kino tannaddamu kulabikako.Bya KIZITO MUSOKE 

POLIISI y’e Mityana eri ku muyiggo gwa muvubuka ateeberezebwa okutuga nnyina n’amutta  n’amala n’adduka era nga mu kiseera kino tannaddamu kulabikako.

Abatuuze ku kyalo Najjanankumbi mu muluka gw’e Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi bakyali mu ntiisa oluvannyuma lw’okusanga mutuuze munnaabwe Konstansia Namusisi, 48, ng’omulambo gwe gusuuliddwa ku kkubo ku Mmande ku makya.

Namusisi abadde omulimi yakomye okulabikako ku Ssande akawungeezi ng’ali mu maka ge. Nnyina w’omugenzi, Jjajja Yuliana Nandegeya era ng’abadde abeera kumpi n’omugenzi yategeezezza nti yakomye okulaba muwala we ku Mmande ng’ali ne mutabani we Semujju nga muzzukulu we y’abadde alina gy’ayagala okumutwala.

 “Bwe nabuuzizza muwala wange gy’alaga ekiro ekyo n’antegeeza nti Semujju alina gy’amutwala. Nakimugambiddewo nti nze mpulira omutima gutiddemu. Nazzeemu okuwulira ebimukwatako ku makya nga bampita nti basanze omulambo gwe nga guli ku kkubo,” Nandegeya bwe yategeezezza.

Jjajja Nandegeya agamba  nti ye olukwe aluteeka ku muzzukulu we, lwa nsonga nti yagenze  ne nnyina ku ssaawa emu ey’akawungeezi, kyokka ye yasobodde okukomawo awaka yekka ku ssaawa ssatu ez’ekiro era  nga yenna mukambwe muzibu. Kye yakoze yayingidde mu nnyumba y’omugenzi n’aggyayo ssente, era ne ku nnyumba n’asibako kkufulu endala n’agenda nga ne mu kuziika nnyina teyalabiseeko.

Omulambo gwasangiddwa gusuuliddwa mu bbanga lwa mmita nga 200 okuva mu maka g’omugenzi era nga gwabadde gulabika nga yatugiddwa butugibwa, kyokka nga mu kifo we gwasangiddwa ku kkubo kyalabise nga gwasuuliddwaawo busuulwa.

Abatuuze bategeezezza mutabani w’omugenzi amanyiddwaako erimu erya  Semujju abadde yaakakomawo ku kyalo, wiiki bbiri eziyise ng’ava mu kibuga. Obuzibu kigambibwa nti bwavudde ku mugenzi okutunda kasooli gwe yaggyeemu emitwalo 10, Semujju ze yabadde ayagala nnyina amuweeko, kyokka n’agaana.

Aduumira poliisi mu disitulikiti ye Mityana, Henry Kintu yagambye nti poliisi mu kiseera kino ekyali ku muyiggo gwa Semujju, atannaba kuddamu kulabikako wadde ng’abadde abeera ne nnyina, era ne basaba buli muntu yenna amulabyeko okukolagana bulungi ne poliisi emuli okumpi.

Poliisi era egamba nti baakutte abantu babiri bagiyambeko mu kunoonyereza kwayo. Bano kuliko John Bosco Ssande ng’ono mwannyina w’omugenzi kyokka nga baludde nga balina obutakkaanya era nga Ssande abadde yamulabula dda okumutusaako obulabe.

Omulala ye Saul Mbabaali, ono nga yaliko muganzi w’omugenzi era ng’embwa za poliisi ze baleese okuzuula omutemu we zaasibidde ku nnyumba ye. Okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

 

Agambibwa okutta nnyina bamuyigga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...