TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukulu Kimeze endagaano gy'ajuliriza tagimanyi - Mmengo

Mukulu Kimeze endagaano gy'ajuliriza tagimanyi - Mmengo

Added 2nd September 2013

ETTAKA ly’embuga ya Mugerere eryaliko yiika 49 lisigaddeko kitundu kya yiika na kisaawe awasambirwa omupiira! 

Bya Saulo Wokulira

ETTAKA ly’embuga ya Mugerere eryaliko yiika 49 lisigaddeko kitundu kya yiika na kisaawe awasambirwa omupiira!

Abantu abasukka mu 800 be bazze basenga ku ttaka lino okulimalawo era nga mu kiseera kino ow’essaza Mugerere,
Ssevvume Musoke talina w’akolera mirimu gye gya ssaza.

Disitulikiti y’e Kayunga y’emu kw’abo abaasenga ku ttaka lino nga ku kitebe ky’essaza kwennyini, yazimbako ekitebe kyayo, ekizimbe ky’ebyobulamu, ekitebe kya poliisi, ofiisi y’omuwaabi wa gavumenti, wamu ne kkooti nga bino byonna bizimbiddwa mu kifo kye kimu okuli embuga y’essaza lya Mugerere.

Ow’essaza Ssevume Musoke agamba nti ekiri e Bugerere jjoogo lyennyini kubanga abakulira disitulikiti baamugoba ku kitebe oluvannyuma lw’okukozesa obuyinza bwabwe ne beegabira ebyapa ku ttaka lino ne bazimbako ofiisi zaabwe mwebakolera kyokka ng’emirimu gya Buganda nnyini ttaka tewali we gikolerwa.

Ekitebe ky’ebyobulamu ku ttaka ly’essaza.

Essaza ly’e Bugerere likolebwa amagombolola mwenda okuli Galiraya, Bbaale, Kayonza, Kitimbwa, Kayunga, Kayunga mumyuka, (town council), Busaana Nazigo e Kangulumira. Ettaka eryaweebwa embuga ya Mugerere likwata ku byalo bisatu okuli Ntenjeru, Kagoye, Kyambogo kyokka nga kuno kwonna kujjudde abantu abazimbyeko amayumba.

Ssabanyala byayogera

Ssabanyala Capt. Baker kimeze bwe yatuukiriddwa yagambye nti basanyufu olw’endagaano eyassibwako emikono wakati wa pulezidenti Museveni ne Kabaka, ng’ekkiriza Abanyala okusigaza eby’obuwangwa bwabwe.

Wabula yannyonnyodde nti ye nga bwe yagitaputa, Abanyala kati bajja kuba ba ddembe okugenda ku kitebe ky’essaza batandike okuddukanyizaawo emirimu gyabwe kubanga mu ndagaano mulimu akatundu akalagira okubaddiza embuga.

Ekizimbe ky’embuga y’essaza.

Mmengo eyogedde

Wabula minisita avunaanyizibwa ku by’amateeka e Mmengo, Apolo Makubuya yategeezezza nti mukulu Kimeze endagaano
gy’ajuliza tamanyi bigirimu kubanga byayogera si bituufu nti baaweebwa ekitebe ky’essaza ly’e Bugerere.

Makubuya yannyonnyodde nti ebintu ebyogerwako mu ndagaano Mmengo by’erina okuwaayo, by’ebyo ebyassibwawo abafuzi b’ensikirano mu bitundu nga Bugerere bye babadde bakozesa nti kyokka bw’otwala ekyokulabirako ekya Bugerere, Kimeze talina kintu kye yali akoze ng’omukulembeze ow’ennono nga bwe yessaawo, n’olwekyo endagaano temuwa bintu bya Buganda
nga bw’alowooza.

Ekitebe kya poliisi ekizimbibwa ku ttaka ly’esaza.

Yagambye nti aba disitulikiti y’e Kayunga abazimbye ku ttaka ly’essaza buli kye bataddeko kijja kusasulwa, abantu basaanye babeere bakkakkamu.

Wabula omu ku baami ba Kabaka atwala Ntenjeru, Ronald Ndugga yannyonnyodde nti abaami abazze bafuga essaza lino okuva emabega be bazze batunda ebibanja ku ttaka lino nti era abasenze beesitula ne bagenda e Mmengo okukkaanya ku ky’obusenze bwabwe naye aba Buganda Land Board ne babagumya nti balindirire okulungamya okunaava e Mmengo ku nsonga eno era kye balinda.

Mukulu Kimeze endagaano gy’ajuliriza tagimanyi - Mmengo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...