TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuliro gutabudde ab''oku Kaleerwe ne balwanira mu lukiiko

Omuliro gutabudde ab''oku Kaleerwe ne balwanira mu lukiiko

Added 2nd September 2013

ABASUUBUZI b’oku Kaleerwe mu Katale ka Kizito akaakutte omuliro bawanyisiganyizza ebisongovu n’abakulira akatale mu Lukiiko olwayitiddwa omubaka wa Pulezidenti.

BYA MOSES LEMISA

ABASUUBUZI b’oku Kaleerwe mu Katale ka Kizito akaakutte omuliro bawanyisiganyizza ebisongovu n’abakulira akatale mu Lukiiko olwayitiddwa omubaka wa Pulezidenti.

Abasuubuzi basikaganye ebitogi n'abamu ku bakulira akatale kano nga babalumiriza okuviirako omuliro ogwakookyezza kyokka Poliisi yayitiddwa bukubirire okutaasa embeera .

Mu kiro ekyakeesezza olw Ssande omuliro gwakutte akatale ka Kizito emmaali y’abasuubuzi ebalirirwamu obukadde 500 n’esaanawo , wabula omuliro gwongedde okusajjula enkaayana mu katale kano eziri wakati wa nnanyiniko Namutebi ssaako abasuubuzi abamulumiriza okubeera nnakyemalira mu nsonga z'okukaddunya.

Kino kyaviiriddeko buli ludda okulumiriza lunnaalwo nti lwe lwavuddeko okwokya akatale kyokka abasuubuzi ku Mmande ku makya baakedde kuddamu kuzimba midaala, wabula baabadde bakyazimba ne bafuna amawulire nga Namutebi bw'abagaanye okuddamu okuzimbisa obubaawo ng’ayagala baleete Konteyina kino ky’abatabudde ne baagala n’okulumba Poliisi y’oku Kaleerwe nga bagamba nti yeekubidde nnyo ku ludda lwa Namutebi.

Embeera eno yawaliriza Yahaya Kakooza, omumyuka w’omubaka wa Pulezidenti e Kawempe okukuba olukiiko lw’abasuubuzi nga yasoose kwogera n’abakulira abasuubuzi wamu ne nnannyini katale Namutebi oluvannyuma n'asisinkana abasuubuzi bonna.

Wabula wakati mu lukiiko abasuubuzi baaganye omu ku baddukanya akatale amanyiddwa nga Lasita Mukasa ng’ono mutabani wa Namutebi okwogera era wano okulwanagana n’okuwanyisiganya ebisongivu we kwatandikidde olwo Namutebi ne yeekandagga n'abamu ku bantu be ne bafuluma olukiiko.

Kakooza yalagidde abasuubuzi okugenda mu maaso n’okuzimba emidaala n’okulonda olukiiko olubatwala nga bwe balinda Poliisi ekole omulimu gw’okuzuula ani eyayokyezza akatale.

Oluvannyuma embeera yazze mu nteeko abasuubuzi ne bakkiriza Lasita Mukasa okwogera, eyabategeezezza nti nnyina Namutebi ali wamu nabo mu buli mbeera.

“ Bannange mu Katale kano nange mwenzijja ekikumi kati lwaki muteekamu eby’obufuzi , nze nsula nkuuma emmaali yammwe kyokka kati mugamba nti ndi mukyamu, mulimba nammwe “ Mukasa bwe yategegeezezza.

Omuliro gutabudde ab''oku Kaleerwe ne balwanira mu lukiiko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...