TOP

Abemmundu bataamye: Basse omusuubuzi e Nateete

Added 15th September 2013

Bya SHAMIM NABUNYA NE MARTIN KIZZA ABAZIGU ab’emmundu abalumba abantu ne babba n’okunyaga bataamye bwe balumbye omusuubuzi w’e Nateete ne bamukuba amasasi agamuttiddewo omulambo gwe ne baguleka mu kitaba ky’omusaayi.



Bya SHAMIM NABUNYA NE MARTIN KIZZA
ABAZIGU ab’emmundu abalumba abantu ne babba n’okunyaga bataamye bwe balumbye omusuubuzi w’e Nateete ne bamukuba amasasi agamuttiddewo omulambo gwe ne baguleka mu kitaba ky’omusaayi.

Innocent Biyomumweisho nnyini supamaketi ya Kolugi esangibwa mu Church Zooni e Nateete y’akubiddwa amasasi, ku ssaawa 5.00 ez’ekiro ekikeesezza Olwomukaaga ng’abazigu bamusanze mu supamaketi ye bwe yabadde ategeka okuggalawo.

Abadde nnannyini supamaketi ya Kolugi e
Nateete, Innocent Biyomweisho gwe baakubye
amasasi ne bamutta.

Ono y’omu ku bantu abasoba mu 30 abazze bakubwa amasasi ne banyagululwa mu bitundu bya Kampala n’emiriraano nga we twogerera abantu abasoba mu 25 bali mu ddwaaliro e Mulago bapooca n’ebiwundu by’amasasi.

Allen Kunda omukozi mu supamaketi anyumya ku ttemu lino ery’e Nateete: ‘Zaabadde ssaawa 5.00 ne wajjawo abasajja babiri omu n’asigala wabweru omulala n’agenda munda n’ayogera ne Biyomumweisho nga bw’amunyumiikiriza. Eyabadde wabweru yazze munda n’atugamba nti

''Towachindi tuwe ssente zonna ze mukozeewo’. Mukama waffe Biyomumweisho yamuwadde ssente omusajja ze yabadde asabye. Olwo omuzigu yatubuuzizza nti tumutunuulirako ki nti tetujja mutwe wansi.

Biyomumweisho yasigadde yeetegereza omusajja ono, twagenze okulaba ng’aggyayo emmun¬du n’amukuba essasi mu kifuba n’agwa wansi.

Mu supamaketi twabaddemu abakozi basatu twabadde tuyimusa emitwe omuzigu n’atugamba nti Air time aliwa ne tumumuwa n’adduka. Twagenze okusituka nga Biyo¬mumweisho ataawa ali mu kitaba ky’omusaayi.

''Nadduse ne mpita mukaziwe Oyinomugisha ali olubuto olukulu ne mmutegeeza ekibaddewo omukazi n’azirika n’atwalibwa mu ddwaaliro e Lubaga.

Abatuuze abaatuuse mu kifo kino okuli Kaddu George baategeezezza poliisi nti nga baakamala okutta muliraanwa waabwe, Biyomuwesiho waliwo omusajja eyazze ng’akwata ku mugenzi nga bw’amuzazawo.

Kaddu yagambye nti: “ Namubuuz¬izza nti okola ki awo omusajja ono eyasangiddwaawo nga baakamala okutta omugenzi yabadde adduka era ne mmukomyawo awo poliisi we yatuukidde’.

Mu byatwaliddwa kuliko ssente ezibaliririwamu obukadde70 nga zaabadde mu seefu ne AirTime abalirirwamu emitwalo 50. Cathy Nalumansi naye eyabadde mu supamaketi eno agamba nti omusajja yazze n’akakookolo

Abemmundu bataamye: Basse omusuubuzi e Nateete

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...

Abamasaaba okuva mu disitulikiti ya Sironko ne Bulambuli abaayanirizza Pulezidenti Museveni ku ssomero lya Masaba SSS.

Obujiji n'okubinuka mu kamp...

Kwabadde kubinuka wonna mu ggwanga ng'abeesimbyewo ku bwapuledidenti banoonya akalulu. Bano abawagizi baabwe baabalaze...

Bobi Wine ne mukyala we Barbi e Kiboga.

Balabudde abaserikale abatu...

AB'EDDEMBE ly'obuntu balabudde nti bagenda kuwawaabira abaserikale abatulugunya abeesimbyewo, buli muserikale bagenda...