
BYA ALICE NAMUTEBI
BANNAMATEEKA b'ekibiina kya NRM batuuyanidde mu kkooti abalamuzi ba kkooti y'oku ntiko bwe babasabye okuwaayo etteeka eriwa ssaabawolereza wa Gavumenti obuyinza obuwandiikira Sipiika Rebecca Kadaga okugoba ababaka bakyewaggula mu Palamenti nga batunula mpwangali!
Kino kyaddiridde abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu Bart Katureebe okubabuuza ebibuuzo eby'omuddiringana n'ekigendererwa okumanya oba ssaabawolereza wa Gavumenti, Peter Nyombi yagenda mu kkooti enkulu ng'amateeka bwe galagira okusobola okufuna obuyinza bw'okuggya ababaka bakyewaggula mu Palamenti.
Munnamateeka wa NRM Joseph Matsiko yasoose kutegeeza kkooti nti ssabawoleereza wa Gavumenti yalina obuyinza bwonna okulagira Sipiika okugoba ababaka bano mu Palamenti oluvannyuma lwa kkooti etaputa ssemateeka okusalawo kyokka bwe baamubuuzizza okuwaayo etteeka ebintu ne bimusobera era omulamuzi Bart Katureebe n'alagira ababaka basigale mu Palamenti okutuusa nga bamaze okwetegereza okujulira kwabwe.
Bino ababaka bakyewaggula bwe babadde basaba kkooti y'oku ntiKko eKkirize okuwulira okujulira kwabwe bwe baategeezezza nti balina ensonga ez'amaanyi omuli kyekubira abalamuzi 2; Steven Kvuma ne Agustine Nshimye gwe bayolesa okuviira ddala mu ntandiikwa y'omusango gwabwe.
Bano era basaba kkooti y'oku ntikko esazeemu ekiragiro ekyayisibwa kkooti ya ssemateeka okubagaana obutaddamu kusaalimbira mu Palamenti okutuusa nga bamaze okuzuula ekituufu oba Sipiika yali musobya bwe yagaana okubafuumuula mu Palamenti oluvannyuma lw'ekibiina kya NRM okubagoba nga kibalanga okusiwuuka empisa.
Munnamateeka w'ababaka bano, Peter Walubiri, yagambye nti omusango gwalimu okumenya amateeka kubanga abalamuzi beesigama ku bujulizi bwa Pulezidenti Museveni kyokka nga mu mateeka Pulezidenti tateekwa kwenyigira mu bintu byakikula kino.
Kinajjukirwa nti kkooti etaputa ssemateeka ng'ekulembeddwamu omulamuzi Steven Kavuma baalagira ababaka bano okuli Muhamed Nsereko, Theodore Sekikubo, Barnabus Tinkasimire ne Willfred Niwagaba obutaddamu kusaalimbira yadde okwenyigira mu mirimu gya Palamenti okutuusa nga bamaze okwekenneenya ensala ya Sipiika oba nga ddala yali mu mateeka.
Bapuliida ba NRM batuuyanidde mu kkooti ku musango gw''ababaka bakyewaggula