TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owapoliisi aleppuka na gwa kusobya ku muwala we.

Owapoliisi aleppuka na gwa kusobya ku muwala we.

Added 18th September 2013

OMUPOLIISI asiiwuuka empisa n’asobya ku muwala we n’amufunyisa olubuto asimbiddwa mu kkooti e Mukono. Omulamuzi Mackay Opolot yamusindise mu kkooti enkulu awerennembe n’omusango guno.



Bya Henry Nsubuga

OMUPOLIISI asiiwuuka empisa n’asobya ku muwala we n’amufunyisa olubuto asimbiddwa mu kkooti e Mukono. Omulamuzi Mackay Opolot yamusindise mu kkooti enkulu awerennembe n’omusango guno.

Oludda oluwaabi nga lukulemberwa Sam Wayira lwategeezezza nti ASP. Charles Oriku (54) akolera ku kitebe kya Poliisi mu obukiika kkono Uganda mu disitulikti y’e Masaka y’avunaanibwa omusango gw’okusobya ku muwala we ow’emyaka 17 ng’asoma mu ssiniya ey’okusatu.

Wayira yategeezezza kkooti nti Oriku ng’asinziira mu maka ge e Kayanja mu ggombolola y’e Naggojje mu disitulikti y’e Mukono nga January 27, 2013 yayita muwalawe ono n’amutuma amunoonyeze essaati ye kyokka wano we yamusikira n’amuggyamu engoye n’amusobyako.

Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okulaba ng’omuwala ono atandise okuvaamu omusaayi, yamuvaako n’amulabula obutabaako muntu yenna gw’abuulirako.

Omuwala yategeeza nti yatya okubuulirira ku maamawe Sarah Namusoke mu kiseera ekyo eyali agenze mu katale.

Kigambibwa nti omuwala ono Oriku si yaamuzaala nga mwana wa mujja na nnyina. Omuwala era yategeeza nti kitaawe ono (Oriku) yali yamwegezaamu dda okumusobyako kyokka olwasooka n’alusimattuka ng’olwaddako teyasobola kumuwona.

Wayira yategeezezza kkooti nti yali dayirekita w’essomero omuwala ono gy’asoma, William Nsubuga eyamutwala mu ddwaliro ne bamukebera ng’okusoma kutandise bwe yali alwalalwala.

Lipoota y’omusawo yalaga ng’omuwala ono bwe yali ali olubuto. Nsubuga bwe yateeka omuwala ku nninga ayogere ani yali nnyini lubuto, kwe kukawanngamula nti kitaawe Oriku ye yamusobyako nga yali teyeebakangako na musajja yenna.

Olwo polisi yamukwata kwe kusimbibwa mu kkooti n’avunaanibwa. Omulamuzi Oporot yagaanye Oriku okubaako ky’ayogera mu kkooti n’agamba nti omusango gwe yazza gwa nnaggomola nga gulina kuwulirwa mu kkooti nkulu yokka.

Oriku yasindikiddwa mu kkomera e Luzira okutuusa olutuula lwa kkooti enkulu lwe lulituuka n’ayitibwa okwewozaako.

Owapoliisi asindikiddwa e Luzira lwa kusobya ku muwala we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...