TOP

Poliisi eggadde 'olubiri' lw'omusamize e Mpigi

Added 9th October 2013

OMUSAWO w’ekinnansi eyazimba ‘olubiri’ mw’abadde akuumira abantu abasukka mu 100, poliisi emuzinze n’eluggala ababaddemu bonna ne balagirwa okudda gye baava.



Bya PADDY BUKENYA

OMUSAWO w’ekinnansi eyazimba ‘olubiri’ mw’abadde akuumira abantu abasukka mu 100, poliisi emuzinze n’eluggala ababaddemu bonna ne balagirwa okudda gye baava.

Poliisi yasanzeemu abaana abali mu mbeera embi n’abakazi ab’embuto kyokka nga bazifunidde mu masabo gano.

Edward Bbosa ew’e Luubu mu muluka gw'e Musa mu ggombolola y'e Kammengo mu Mpigi y'abadde n'olubiri, DPC wa Mpigi Julius Ayimbisibwe ky’ayise okukuumira abantu mu buwambe.

Abaabaddemu baagezezzaako okulemesa RPC Hadijah Namutebi okuyingirayo nga bagamba nti nga Gavumenti bw’erina amateeka, n’olubiri luno lulina amateeka agafugawo ng’abakazi tebaluyingiramu nga tebanaabye ddagala.

Mwasangiddwaamu abaana abaazing'ama abasoba mu 50 era akulira ebyobulamu ku ggombolola, John Bosco n'abalagira okutwalibwa mu ddwaaliro e Butoolo mu bwangu.

Abatuuze ku byalo bibiri; Ssama ne Luyubu beemulugunyizza ku bantu abasula mu masabo ago ne balumiriza nnyinigo, Bbosa olw'okubatulugunya nga bw’abatiisa okubaloga bafe singa bamuloopa mu mbuga z’amateeka.

Yabalemesa okukima amazzi ku nayikondo ye Luubu n’okukozesa kaabuyonjo nga n'ekifo tekibaddeemu kaabuyonjo.

Bbosa asangiddwa talina bisaanyizo bimukkiriza kubeera musawo wa kinnansi era akulira abasawo b'ekinnansi mu Kammengo, Nyanzi n'ategeeza nti tamumanyi mu kibiina kyonna eky'abasawo ab'ekinnansi kwe kumulagira ayingira mu kibiina agezesebwe oluvanyuma akakasibwe mu mitendera emituufu.

Ssentebe w’eggombolola y’e Kammengo, Fred Male ng’ayambibwako abakulira poliisi, baawadde Bbosa olunaku lumu ng’abalwadde b'abadde akuumirawo bonna bazze ewaabwe.

Poliisi eggadde ''olubiri'' lw''omusamize e Mpigi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.