TOP

Kkooti esazeewo mu gwa babaka abagobwa mu NRM

Added 10th October 2013

KKOOTI ensukkulumu eragidde kkooti etaputa ssemateeka egende mu maaso n’okuwulira emisango gyonna NRM gyeyawaabira ababaka abagyewaggulako neragira ababaka bano bwe baba tebamatidde na nsala yaayo badde mu kkooti y’okuntiko bajuklire.



BYA ALICE NAMUTEBI
KKOOTI ensukkulumu eragidde kkooti etaputa ssemateeka egende mu maaso n’okuwulira emisango gyonna NRM gyeyawaabira ababaka abagyewaggulako neragira ababaka bano bwe baba tebamatidde na nsala yaayo badde mu kkooti y’okuntiko bajuklire.

Ababaka okuli Theodore Sekikubo, Muhamed Nsereko, Barnabus Tinkasimire, ne Willfred Nuwagaba beekubira enduulu mu kkooti ensukkulumu nga basaba esazeemu ekiragiro kkooti ya ssemateeka kyeyawa ng’eragira balekere awo okukiika mu palamenti okutuusa ng’emalirizza okuwulira emisango NRM gyeyawaaba ng’eyagala bagobwe mu palamenti nga bwe baagobwa mu kibiina.

Kkooti ensukkulu eyatudde eggulo lya leero e Kololo ng’eriko abalamuzi 7 okuli: Bart Katuleebe, Galdino Okello, Benjamin Odoki, George Willson Tseseko. Jothum Tumwesigye, Christine Kitumba ne Esther Kisaakye, mukaaga ku bo bakkiriziganyizza ababaka bano basigale mu palamenti.

Omulamuzi Esther Kisaakye yayawukanye n’ensala ya banne n’ategezezza nti okusinziira ku ku bujulizi obwaleetebwa mu musango guno ababaka baalina kusigala mu palamenti okutuusa nga kkooti ensukkulumu ewadde ensala yaayo mu kujulira kwebateekayo wabula sikubeerayo paka nga kkooti etaputa ssemateeka omusango ogwasooka gye guli ewadde ensala yaayo.

Kisaakye ono era yagambye nti ekya balamuzi ba kkooti etaputa ssemateeka okugaana okuyita pulezidenti Museveni bamusoye ebibuuzo tekitegeeza nti abalamuzi balina kyekubiira nga ababaka bwebakirambika.

Abalamuzi bano wabula bagaanye okusaba kw’ababaka okw’okuyimiriza kkooti etaputa ssemateeka okugenda mu maaso n’okuwulira n’okuwa ensala mu omusango gwabwe era ne bagamba nti ababaka balina eddembe okujulira singa baba tebamatidde nakinasalibwawo kkooti ya Ssemateeka.

Abalamuzi olwamaze okuwa ensala yaabwe ababaka bano ne babuukula. Nsereko yasinzidde ku kkooti n’agamba nti bo ababalonda bebabalinako obuyinza so si pulezidenti Museveni era bo tebalinga ba RDC baalonda.

Yayongeddeko nti bweribeera ddagala nga Museveni ly’akozesa ku kikolo gy’aliggya nabo gye balinoga.

Nga September 6 2013 abalamuzi ba kkooti etaputa ssemateeka nga bakulembelwa Omulamuzi Steven Kavuma baalagira Ssabawoleereza wa gavumenti awandiikire Sipiika wa palamenti agaane ababaka bano okuddamu okukiika mu palamenti okutuusa nga bamazze okuwulira omusango gwabwe.

Ababaka bawolerezebwa bannamateeka abakulemberwa Caleb Alaka ate John Mary Byamugisha y’awolereza NRM, ye Ssabawolereza wa gavumenti yakiikiriddwa Patience Mutesi.

NRM yeekubira enduulu mu kkooti etaputa Ssemateeka ng’eyagala ababaka bano abana bagobwe mu palamenti okuva lwe basiwuuka empisa ne babagoba mu kibiina.

 

Kkooti esazeewo mu gwa babaka abaobwa mu NRM

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...