TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eyodde ababadde baakayimbulwa mu kkomera

Poliisi eyodde ababadde baakayimbulwa mu kkomera

Added 17th October 2013

POLIISI ekoze ekikwekweto mu Kisenyi mweyoledde abagambibwa okubeera abamenyi b’amateeka abeenyigira mu kuteega abantu mu makubo ne babanyaga.



Bya ERIA LUYIMBAZI
POLIISI ekoze ekikwekweto mu Kisenyi mweyoledde abagambibwa okubeera abamenyi b’amateeka abeenyigira mu kuteega abantu mu makubo ne babanyaga.

Akulira poliisi ya Kampalamukadde, Emmanuel Ochamuringa yagambye nti mu kikwekweto kino mwe baakwataganidde n’abakulembeze mu Kisenyi baayodde abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka 60 nga baasangiddwa mu bifo ebyekusifu.

“Twasazeewo okukwatagana ne LC okukola ekikwekweto okusobola okukwata abeenyigira mu bumenyi bw’amateeka mu Kisenyi kuba babadde basitudde buto,” Ochamuringa bwe yagambye.

Yagambye nti abamu ku bayooleddwa be bamu kw’abo abaali bakwatiddwaako mu misango gy’obubbi ne basindikibwa mu makomera kyokka bwe baayimbula ng’ebibonerezo ebyabaweebwa biweddeko ne basalawo okutandikira we baakoma nga kati bagenda kubazzaayo.

Yategeezezza nti abamu ku baakwatiddwa basangiddwa n’ebyuma omuli magalo, obutayimbwa ebiteeberezebwa nti babadde babyeyambisa mu kumenya amayumba obuduuka n’okuteega abantu mu makubo ne babanyaga.

Yagasseeko nti ekikwekweto kino kyakoleddwa ku Lwokusatu ku makya ng’abasinga baabadde baliko obufo we beekukumye era ng’abasinga ku bano basibuka mu bitundu by’e Katwe, Ndeeba, Makindye n’awalala kyokka ng’amakanda baagasimba mu Kisenyi gye babbira.

Abamu ku baakwatiddwa kuliko; Abubakar Monday amanyiddwa okuba omumenyi w’amateeka mu Kisenyi ow’olulango, Richard Mugenyi, Brain Wanyibe, Shaban Yasin, Sseka Faisal, Mbalangu Nsubuga, Patrick Mukisa, Hussein Muhereza.

Abalala kuliko; Hassan Kabijji, Simon Ssenyonjo, Isma Ochuka oluusi nga yeeyita Vampire, Ssegirinya, Kalule, Denis Musoga ne Emma.

Poliisi eyodde ababadde baakayimbulwa mu kkomera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....