Bya IVAN LUBEGA
PULEZIDENTI Museveni addizza abeebibanja ettundutundu ku ttaka eribaddeko enkaayana e Kayunga ne bamukubira emizira okumusiima.
Museveni yagenze e Kayunga eggulo n’akuba olukung’aana e Kinnamawanga mu ggombolola y’e Bbaale awali enkaayana, mwe yasinzidde okuwa ensala ye ku ttaka erirudde nga liriko enkaayana wakati w’omugagga Moses Karangwa Kariisa n’abeebibanja ababadde balwanirirwa Minisita omubeezi ow’ebyettaka Aidah Nantaba.
Pulezidenti yasazeewo bw’ati: Yiika 250 eziri ku kyapa ekya mayiro ne yiika 308 nga nazo ziri ku kyapa kya mayiro yaziwadde Karangwa ate ettaka eriwerako yiika 1,164 nga liri ku kyapa kya liizi n’aliwa abeebibanja. Bwe yalangiridde kino abeebibanja ne bakuba obuluulu n’engalo okumusiima.
Museveni yagambye nti ettaka erya yiika 250 ne 308 alirekedde Karangwa kubanga akizudde nti yaligula mu butuufu era alirinako ebyapa ebituufu okuva ku mugenzi Luyombya eyali nnannyini lyo; wabula yiika 1,164 nti yakozesa olukujjukujju ng’ayita mu ofiisi y’ettaka e Mukono okulifuna.
MUSEVENI ALAGIDDE KARANGWA
Alagidde Karangwa ateeke olukomera ku ttaka lye bamuddizza okulyawula ku ly’abeebibanja era n’aweebwa ekiragiro obutaddamu kusaalimbira mu kitundu ky’abeebibanja era n’abeebibanja ne baweebwa ekiragiro obutasaalimbira mu kitundu kya Karangwa.
Museveni agambye nti gavumenti yaakukwata bannannyini ttaka abatulugunya abeebibanja nti kyokka era n’abeebibanja aboogera obulimba nabo baakuvunaanibwa.
Abantu abasukka mu 350 be babadde ku ttaka lino era baayisizza ebivvulu e Kinnamawanga nga balaga essanyu olw’okubazza ku bibanja kwe baali baagobwa.
Nantaba yalaze obumativu ku nsalawo eno wabula n’asaba Pulezidenti aggye poliisi mu nsonga z’ettaka nti kubanga aba poliisi abasinga beekobaana n’abagagga okunyaga ettaka n’okutulugunya abeebibanja abanaku.
Nantaba aludde ng’ali ku mbiranye n’Omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura ng’entabwe eva ku butakwatagana ku nsonga z’ettaka ly’e Kayunga.
Pulezidenti addizza ab’e Kayunga ebibanja