Bya AHMED KATEREGGA
ABALAMBUZI batandise okweyiwa mu Uganda beerabireko n’agaabwe ng’enjuba esikirizibwa omwezi obudde bukwate zigizigi ng’ekiro.
Okusinziira ku bakakensa mu by’obwengula ekintu kino Abaganda okuva edda kye baayogerangako ng’omwezi okulwana n’enjuba kwakubeerawo ku Ssande nga November 3 okuva ku ssaawa 7.05 ez’omu ttuntu okutuuka ku ssaawa 12.38 ez’akawungeezi, naye ng’entikko ejja kubaawo ku ssaawa 9.39 ez’olweggulo omwezi kumpi gwe gunaasiikiriza enjuba yonna, okumala eddakiika emu ne sikonda 49 olwo obudde bukwate.
Ab’omu bwengula bagamba nti ekifo ekigenda okukwatira ddala enzikiza okumala eddakiika emu ne sikonda 49 kiri ku ssomero lya Owiny Primary School mu Disitulikiti y’e Nebbi mu kitundu kya West Nile mu Uganda, era ng’abalambuzi abatandise okweyiwa wano, boolekere Nebbi.
Ebyokwerinda e Nebbi binywezeddwa nnyo mu kibuga naddala mu woteeri entonotono eziriyo, ku ssomero obuyonjo bwongeddwaamu naddala okussaawo kaabuyonjo era nga kisuubirwa nti n’abamu ku bakulembeze mu ggwanga lino, bakubeera wamu n’abalambuzi okwerolera ku kyafaayo kino.
Wabula e Nebbi wokka si we wagenda okulabirwa okusiikirizibwa kw’enjuba kuno wabula ne mu Kampala kujja kuba kulabibwa naye ng’eri y’ewali entikko.
OMUKUGU ALABUDDE
Kyokka omukugu alabudde abantu obutatunuula waggulu na maaso meereere okuggyako nga bambadde gaalubindi ez’okubaweebwa abasawo abakugu oba waakiri okukozesa obuveera obuddugavu oba firimu ezikuba ebifaananyi ezitali nkozese babirabire omwo, sikulwa ng’amaaso gaabwe gajjako ekifu.
Omusawo mu by’amaaso okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, Dr Anne Ampaire Musika yalabudde nti abamu ku balina okukuumibwa ennyo obutamala gatunula mu njuba nga birwana n’omwezi be baana abato.
Yalabudde abantu ku kukozesa endabirwamu, amazzi mu bbaafu oba ebirengera ewala nti bino byandibaleetera okufa amaaso.
Abaganda okusiikirizibwa kw’enjuba n’omwezi bakuyita kulwana kwabyo era bawanuuza nti byalwana ku mulembe gwa Ssekabaka Jjuuko mu myaka gya 1650, nti era amagumba gaabyo gali ku lusozi Wagwa.
Enjuba yaakusiikirizibwa omwezi ku Ssande