
Bya SOFIA NALULE
OMUWALA alumirizza omukazi okumubba ku jjajjaawe n’amuleeta e Kampala okumukozesa kyokka n’amwefuulira n’amusuula.
Aisha Namugerwa agamba nti Nnaalongo Judith yamubba ku jjajjaawe bwe baali bagenze okuziika okumpi n’awaka we babeera ng’ali mu P1 mu Kitungo Primary School. Namugerwa eyasangiddwa ku LC e Kazo Central yategeezezza nti Nnaalongo yasooka kumusaba jjajjaawe amutwale yasala amagezi n’amuyita okuleetera jjajjaawe ssukaali ku dduuka era olwatuuka eyo n’amuteeka mu mmotoka n’amutwala e Kampala .
Namugerwa agamba nti Nnaalongo yamuleeta mu Kampala nga wa myaka mwenda n’amuteeka mu maka ge wabula bwe yanoba n’amuleka n’abaana ew’omusajja.
Namugerwa yagasseeko nti ng’awezezza emyaka 14 Ssaalongo yamwefuulira n’amusaba omukwano bwe yagaana n’amugoba nga kati talina w’abeera.
Namugerwa agamba nti nnyina ye Robinah Bukirwa ate kitaawe ye Rashid Kato ab’e Kaliisizo.
Akola ku nsonga z’amaka ku kakiiko ka Kazo Central, Hajat Janat Kirwana yagambye nti banoonya Nnalongo avunaanibwe ogw’okubba omwana
Omwana alumirizza Nnaalongo okumubba e Kaliisizo n’amuleeta mu Kampala