TOP

Lukwago ne Besigye poliisi ezzeemu okubakwata

Added 19th November 2013

ABASERIKALE bazzeemu okutaayiza Loodi Meeya, Erias Lukwago, ng’afulumye okuva awaka agenda okweyanjula ku kitebe kya ba mbega ba poliisi e Kibuli ne bamukwata.



 

Bya Hannington Nkalubo ne Joseph Mutebi

ABASERIKALE bazzeemu okutaayiza Loodi Meeya, Erias Lukwago,  ng’afulumye okuva awaka agenda okweyanjula ku kitebe kya ba mbega ba poliisi e Kibuli ne bamukwata.

Bamuvuze butereevu okumuzZaayo mu kaduukulu ka poliisi y'e Naggalama gye yaggaliddwa ku Mmande kyokka n'ayimbulwa ekiro.

Lukwago bamuyisizza Lungujja, Kosovo, Lusaze , Namung'oona ne Kalerwe - Gayaaza okugenda e Naggalama. 

Lukwago nga bamuyingizza mu mmotoka ya Poliisi. EKIF: HANNINGTON NKALUBO

Loodi Meeya Lukwago mu nnaku ennyingi yategeezezza nti tamanyi lwaki poliisi emusobedde!

“Bandagidde nneeyanjule ku kitebe kya bambega leero nti nnina emisango gyennazziza era gyembadde ngenda, kyokka kati sigenze era ne guno bayinza okugufuula omusango nti mbajjeemedde ate nga be bankutte,” Lukwago bwe yalaajanye.

Yagambye nti wadde ateekwa okukuba olukung'aana n’ategeeza abalonzi be ebikwata ku lipooti eyamufulumiddwa, kyokka ku mulundi guno ssi lwe yabadde agenda okukuba kuba baabadde bamulagidde okweyanjula ku kitebe kya bambega ba polisi e Kibuli.

Lukwago nga bamuyingizza mu mmotoka ya Poliisi. EKIF: HANNINGTON NKALUBO

Lukwago yagambye nti ekigendererwa kya Gavumenti kikyamulemye okutegeera kubanga bamuyisa ng’atali mukulembeze eyalondebwa abantu ng’ayise mu kalulu .

“Byonna bye bakola bitutulugunya naye ekiseera kigenda kutuuka byonna biggweewo kubanga tewali kisinga maanyi g’abantu,” Lukwago bwe yayongeddeko.

 

Mmamba ya poliisi ng'esika mmotoka ya Besigye. EKIF: JOSEPH MUTEBI

Besigye naye bamukutte.

Aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano,  Andrew Kaweesi yeezoobye ne Col. Dr Kizza Besigye mu Kampala wakati eyabadde agenze okwegulira ku ngoye ku Mini Price.

Ku ssaawa 6:00 ez’emisana, Besigye eyabadde mu mmotoka y’ekika kya Prado UAK 773F yavuze n'atuuka mu maaso g’essundiiro ly’amafuta erya “Shell” ku Ben Kiwanuka okumpi ne Mini Price, n’aggyayo omutwe okuwuubira ku bawagizi nabo bakira abamuddamu.

Kaweesi ng'aduumira abaserikale. EKIF: JOSEPH MUTEBI

Mu kiseera kino poliisi teyabaddewo kuba baabadde bafunye olugambo nti Besigye tali mu ggwanga ali South Africa, kyokka poliisi y’oku Mini Price yagenze okwetegereza nga Besigye ava mu mmotoka  okubuuza ku bantu, ne bajja okumukwata kyokka yeesibira mu mmotoka n'gaana okuvaamu.

RPC wa Kampala South, Micheal Mugabi, ne basajja be ne baagezzaako okutiisatiisa Besigye ave mu mmotoka kyokka ne yeerema abantu ng'eno abantu bwe batiisatiisa poliisi bw'eddamu okwasa mmotoka ye tbagenda kugatta Besigye beekalakaase.

Abantu nga beezooba ne poliisiEKIF: JOSEPH MUTEBI

Oluvannyuma Poliisi yaleese kabangali yaayo ne basibako mmotoka ya Besigye okugiwalula kyokka ddereeva wa Besigye n’ateekamu ggiya n’egaana okusimbula.

Wano omuduumizi wa poliisi mu Kampala, Andrew Felix Kaweesi we yatuukidde n’alagira baleete ekimotoka kya mmamba ne bakisibako mmotoka ya Besigye era bw'ekityo ne kigiwalula okutuuka ku CPS mu Kampala.

Ebirala ku Lukwago.......

Lukwago poliisi emuyimbudde

Bakira poliisi ewalula mmotoka ya Besigye ng'eno abasuubuzi bwe bagiwerekeza amayinja n’obukyupa bw’amazzi. Abaserikale baakubye amasasi mu bbanga okugumbulula abasuuzi era baabadde batandisse okukuba ttiyaggaasi Kaweesi n’abagaana.

Kaweesi yagambye nti Besigye ne Lukwago beerimba tebagenda kubakkiriza kutataaganya Bannakampala abeekolera emirimu gyabwe n'agamba nti poliisi ejja kukuuma emirembe.

Yagambye nti kituufu Besigye baamukutte era bagenda mu maaso n’okulaba eky’okumukolera.

 

 

Lukwago ne Besigye poliisi ezzeemu okubakwata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...