TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakansala abagoba Lukwago balayiziddwa Jeniffer Musisi

Bakansala abagoba Lukwago balayiziddwa Jeniffer Musisi

Added 21st November 2013

BAKANSALA abana abaawangudde okulonda kw'okujjuza kanso ya #KCCA esobole okutuula wiiki ejja okuggyamu Loodi Meeya Erias Lukwago bwesige bali mu kulayizibwa dayirekita wa Kampala, Jeniffer Musisi.BAKANSALA abana abaawangudde okulonda kw'okujjuza kanso ya #KCCA esobole okutuula wiiki ejja okuggyamu Loodi Meeya Erias #Lukwago bwesige bali mu kulayizibwa dayirekita wa Kampala, Jeniffer Musisi.

Bakansala abapya okuli Frank Kanduho, Mbabazi Mwinganisa, Denson Nyabwana, ne Kagyina Karuma, abalondeddwa ku Lwokubiri okukiikirira ebibiina by’abakugu KCCA balayiziddwa era kati kkanso ya KCCA ejjudde.

Bano baalondeddwa okukiikirira ebitongole eby’abakugu okuli bannamateeka, abakubi ba pulaani, abasawo ne bayinginiya kati batandise okukola emirimu gyaabwe mu butongole..

Minisita avunaanyizibwa ku Kampala, Frank Tumwebaze ateekateeka kuyita kkanso ya KCCA ku Lwokubiri lwa wiiki ejja bakansala bayise ekiteeso ekigyamu Lukwago obwesige.

Ensonda zaategeezezza nti kyasaliddwawo Minisita Tumwebaze okuyita kkanso ya KCCA ku Lwobubiri nga November 26, Bakansala baleete ekiteeso ekiggyamu Lukwago obwesige awatali kumala biseera.

 Ebirala ku Lukwago.......

Lukwago poliisi emuyimbudde

Bakansala abaawawaabira Lukwago bajaganya Jeniffer Musisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

Bannabayabufuzi mutuyambe t...

ABATUUZE b'e Ntebe mu butundu by'e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n'abazirakisa okubayamba...

Wetaka

Munna FDC ayagala poliisi e...

MUNNA FDC avuganya ku kifo ky'omubaka wa palamenti owa Bubulo East, Chris Matembu Wetaka alaajanidde poliisi okumuddiza...

Salvado ne kabiite we nga basolooza ebirabo mu Klezia.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Omuzannyi wa komedi, Patrick Idringi okuva mu bitundu by'e Ombokolo amanyiddwa nga Salvado ku siteegi akubye mukyala...

Mayambala ng’ayogera mu lukuηηaana lw’abaliko obulemu.

Mayambala yeeyamye okusooso...

WILLIAM Mayambala omu ku bavuganya ku ntebe y'obwapulezidenti ategeezezza nti ye yekka alina entegeka ennuηηamu...

Ekipande Stecia kye yakoze.

'Stecia naye ayingidde mu s...

Abasajja ennaku zino baafuuka ba bbula. N'abawala bavudde ku nnono n'okulinda abasajja okubakwana n'okusooka okukyala...