TOP

Arinaitwe eyatuga omulamuzi asimattuse akalabba

Added 22nd November 2013

RICHARD Arinaitwe omuvubuka ajjukirwa ennyo kumpi buli muntu olw’okugwa omulamuzi Elizabeth Jane Alividza mu bulago (mu 1998) ng’amuwozesa ku ngeri gye yattamu omuntu, asimattuse akalabba!



Bya Alice Namutebi.

RICHARD Arinaitwe omuvubuka ajjukirwa ennyo kumpi buli muntu olw’okugwa omulamuzi Elizabeth Jane Alividza mu bulago (mu 1998) ng’amuwozesa ku ngeri gye yattamu omuntu, asimattuse akalabba!

Arinaitwe abadde yaakamala e Luzira emyaka 15 ng’alinze okuttibwa olw’okutta omuwala Omuzungu Cecilia Marie Goetz mu wooteeri ya Equatoria mu Kampala nga July 28, 1998 kkooti emukendeereza ku kibonerezo nga kati waakumala obulamu bwonna mu kkomera e Luzira.

Omulamuzi Joseph Mulangira owa kkooti e nkulu e Kampala agambye nti okusinziira ku nneeyisa ye tasobola kumuta kwetaaya mu bantu nga munnamateeka we bwe yali amusabye era mu kifo ky'ekibonerezo ky'okuwanikibwa ku kalabba n'amubeerera waakisa n'amusiba mayisa.

Mulangira yagambye nti okusinziira engeri abaserikale b'amakomera gye babadde bakuumamu Arinaitwe nga ne bw'aba ayingidde mu kaguli bakeetoloola, kiraga nti wattabu era atabonerera!

Omulamuzi era yagambye nti n'engeri gye yabuukira omulamuzi Elizabeth Jane Alividza mu bulago n'agezaako okumutuga, nako kabonereo ka maanyi akalaga emsiiwuufu n'obutamenyeka olw'ebyo bye yakola era singa amuta, bubeera butenkanya obuwedde emirimu eri ab'enganda z'oyo gwe yatta bw'atyo n'alagira azzibweyo mu kkomera e Luzira okutuusa lw'alifa.

Omulamuzi era alabudde abakulu mu kkomera nti ekibonerezo ky'awadde Arinaitwe tebalina kukisalako wadde okumuta nga beekwasa nti abadde n'empisa ennungi.

Arinaitwe olwawulidde ensala y'omulamuzi, yavudde bulungi mu kagulu n'atuula ku ntebe n'asalako.

Arinaitwe yasingisibwa omusango gw'okutta Omuzungu Cecilia Marie Goetz bwe yamusanga mu woteeri ya Equatoria mweyali asuula, n'amusogga ebiso n'afiirawo mu mwaka gwa 1998 era kkooti mu mwaka gwa 2003 n'eragira awanikibwe ku kalaba.

............................................................................................................................................

 Ebirala ku Arinaitwe.....

Arinaitwe eyatuga omulamuzi yandisimattuka akalabba leero  

Arinaitwe asabye kkooti emukendeereze ku kibonerezo ky'akalabba

........................................................................................................

Arinaitwe eyatuga omulamuzi asimattuse akalabba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...