Bya Eriya Luyimbazi, Muwanga Kakooza ne Kizito Musoke
MINISITA akulira oludda lwa Gavumenti mu Palamenti, Muky. Justine Kasule Lumumba yasinzidde Jinja n’asoomoza bannaddiini n’abakulembeze b’ennono mu Buganda okutuuza Loodi meeya Erias Lukwago ne Dayirekita wa Kampala Jenniffer Musisi babatabaganye.
‘’Lukwago ne Musisi bombi Baganda. Muntu ki atalina ludda asobola okubataganya? Singa ku bombi (Lukwago ne Musisi) kubaddeko atali Muganda bandirumirizza nti abatali Baganda batabudde ekibuga.
“Wadde waliwo ebituli mu tteeka lya Kampala naye n’obutakkaanya bwa Lukwago ne Musisi busaanye okukolwako,’’ minisita Kasule Lumumba nga mubaka wa palamenti akiikirira disitulikiti y’e Bugiri esangibwa e Busoga era nampala w’ababaaka ba NRM bwe yagambye.
Bino Lumumba yabyogeredde mu ‘Source of the Nile Hotel’ e Jinja ku Lwomukaaga bwe yabadde aggulawo omusomo gwa bannamawulire abasaka aga palamenti okwagendereddwa okutumbula enkola y’omulimu guno ogwatekeddwa ofiisi ye.
Ababaka mu Kampala beegasse ku Lukwago
Ababaka ba Palamenti abava mu mu Kampala beegasse ku Lukwago ne bategeeza nti gavumenti bw’eba eyagala okumalawo ekizibu mu Kampala, eteekwa okussa ekitiibwa mu nsala ya kkooti.
Mu lukung’aana lw’amawulire olwatuuziddwa mu maka ga Lukwago e Wakaliga ku Ssande omubaka wa Makindye East, John Ssimbwa (NRM) yannyonnyodde nti bbo ng’ababaka ba palamenti abava mu Kampala bakkiririza mu nsalawo ya kkooti eyategeezezza nti Lukwago ye Loodi Meeya.
Ssimbwa eyabadde ne Latif Ssebaggala owa Kawempe North ne Richard Ssebuliba Mutumba owa Kawempe South ne Moses Kasibante owa Lubaga North yagambye nti gavumenti bw’eba teyamatidde na nsala ya kkooti , erina kweyambisa mateeka so si lyanyi.
Ssimbwa era yawagidde enteeseganya wakati wa Gavumenti ne Lukwago kyokka n’agamba nti bonna ng’abakulembeze bw’omu Kampala balina okwetaba mu nteeseganya zino n’agamba nti gavumenti ereme kusisinkana Lukwago yekka wabula abakulembeze bonna abava mu Kampala.
“Gavumenti bw’eba eyagala wabeerewo enteeseganya ezinaagonjoola ebizibu n’okusika omuguwa oguliwo mu Kampala ereme kusisinkana Lukwago yekka wabula abakulembeze bonna abava mu Kampala kuba nabo balina ensoga zeezimu nga bwe balakebwa ebbali obuzibu bujja kuba tebuweddeewo,” Omubaka Ssimbwa bwe yategeezezza.
Kyokka mu lukung’aana lwa bannamawulire olwayitiddwa Katikkiro Amama Mbabazi ku Lwokutaano oludda lwa gavumenti lwayongedde okukiggumizza nti ensala y’omulamuzi Yasin Nyanzi yakoleddwa mu bukyamu nti era Lukwago takyabalibwa nga Loodi Meeya wa Kampala wabula omuntu waabulijjo kubanga ekiteeso ekiyimiriza olukiiko olwamuggyeemu obwesige kyayisiddwa ng’olukiiko lwawedde dda.
“Lukwago tetukyamubala nga Loodi Meeya naye tugenda kukwata amakubo amalala ag’amateeka okulaba nti ekyasaliddwawo omulamuzi Nyanzi kiggyibwawo abantu baleme kututegeera bubi,” Ssaabawolereza wa Gavumenti, Peter Nyombi bwe yagambye.
Obubaka bwe bumu bwe bwaweereddwa Mbabazi wamu ne Minisita w’Ensonga Ezomunda, Gen. Aronda Nyakairima abeetabye mu lukung’aana luno.
AKABONDO KA NRM KAYITIDDWA
Ate olukiiko lw’akabondo k’ababaka ba NRM luyitiddwa bukubirire ku Lwokubiri, okuteesa ku nsonga za Kampala omuli n’okyokuggyamu Loodi Meeya Lukwago obwesige.
Ssentebe w’akabondo, David Bahati yagambye nti olukiiko luno lugendereddwamu okulaba nga basalawo gavumenti ky’erina okutambulirako ku nsonga za Lukwago. Kino we kijjidde nga waliwo akaleega bikya nga Gavumenti egamba nti Lukwago takyabalibwa nga loodi meeya , ate nga ne kkooti yakamala okulaga nti akyali mu kifo kino.
Lukwago ne Musisi babatabaganye