TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Atutte ssente za bba n'ategeka okwanjula omusajja omulala

Atutte ssente za bba n'ategeka okwanjula omusajja omulala

Added 10th December 2013

EMIKOLO gy’okwanjula giguddemu omukoosi omusajja bw’avudde mu mbeera n’atwala mukazi we gw’alinamu abaana babiri ku poliisi n’amusiba. Yamukukunudde mu saaluuni nga bamuyooyoota n’amulumiriza okutwala ssente ze obukadde obutaano z’abadde yamuweereza n’aziteeka mu musiguze gwe yabadde ategese okBya SHAMIM NABUNYA

EMIKOLO gy’okwanjula giguddemu  omukoosi omusajja  bw’avudde mu mbeera n’atwala mukazi we gw’alinamu abaana babiri ku poliisi n’amusiba. Yamukukunudde mu saaluuni nga bamuyooyoota n’amulumiriza okutwala ssente ze  obukadde obutaano z’abadde yamuweereza n’aziteeka  mu musiguze gwe yabadde ategese okwanjula ewaabwe e Mityana.

Ddirisa Katende,27, ow’e Kinaawa mu ggombolola y’e Nsangi yatutte Sumaiya Nammande ku poliisi ng’amuvunaana okumuwa ssente n’aziteeka mu kwanjula kwe n’omusiguze landiroodi waabwe nga naye wa mu Kinaawa.

Katende yategeezezza poliisi nti yali yagenda Sudan okukola kyokka bwe yakomyewo baliraanwa ne bamutegeeza nti waliwo omusajja agenda okwanjula Nammande ku Lwomukaaga  luno oluwedde kuba bwe yatuuse ku nnyumba nga nzigale kwe kumukubira essimu n’amutegeeza nga bw’ataliiwo.

‘’Kyampalirizza okugenda ewa mukwano gwe e Kabaawo kyokka ngenda okutuukawo ng’ali mu saaluuni bamukolako enviiri agende mu kyalo e Mityana okwanjula musajja mulala.  Kyokka bwe nnamubuuzizza ssente ze nnamuweerezza okuteeka ku akawunti yange n’antegeeza nti teziriiwo ekyampalirizza okuyita poliisi y’e Nateete n’emukwata,’’ Katende bwe yagambye.

Nammande olwatuusiddwa ku poliisi y’e Nateete n’ategeeza nti omusajja ono yali yamulekawo emyezi ebiri emabega nga kati abadde yafunayo omusajja omulala nga landiroodi ku mizingo mu Kinaawa.

Yeekazizza nti Katende abadde tamumatiza mu bya mukwano era abadde amukuba olutatadde.

Wabula mukyala w’omusiguze,  bino olwamugudde mu matu naye n’ajja ng’awanda muliro ng’agamba nti bba yali yamuwasa dda era yaggyeeyo n’ekifaananyi kye beekubya ku mbaga.

Katende yamulumbye okumubuzaabuza n’amuweerezanga ssente okuzitereka kyokka ng’ali mu bwenzi n’azoonoona.

Akulira poliisi y’e Nateete, John Mwaule yategeezezza nti omukazi ono waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe ogw’obubbi era yagguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD:45/06/12/2013. 

Poliisi yabadde akyanoonya omusiguze naye abuuzibwe ku nsonga zino.

Atutte ssente za bba n’ategeka okwanjula omusajja omulala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano yabadde mu kkooti e Iganga.

Enguudo z'e Fort Portal zis...

WE bukeeredde olwaleero ng’enguudo zonna eziyingira n’okufuluma ekibuga Fort Portal poliisi n’amagye bazisuddemu...

Ssaabasumba Lwanga ( ku ddyo) mu kusabira Fr. Lumanyika.

Temukozesa lyaanyi - Ssaaba...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n'awa...

Tumukunde mu lukungaana.

Be baagoba ku ttaka ly'ebib...

MAJ. Gen. Henry Tumukunde asuubizza okuliyirira abantu bonna abaagobwa ku ttaka lye bibira n'okukyusa ebyenjigiriza...

Amuriat ng'ali e Terego.

Poliisi etaasizza Amuriat o...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku Bwapulezidenti, amaze essaawa nnamba ng'asobeddwa oluvannyuma...

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...