TOP

Amasannyalaze gasse omuyizi

Added 27th December 2013

OMWANA akutte makansi asale waya y’amasannyalaze ga muliraanwa waabwe ebadde ereebeetera wansi ng’alowooza tegaliiko gamusse.



Bya Mukasa Kivumbi
OMWANA akutte makansi asale waya y’amasannyalaze ga muliraanwa waabwe ebadde ereebeetera wansi ng’alowooza tegaliiko gamusse.

Sandra Mukaruganda, 14, abadde asoma siniya esooka mu Lugazi Mixed Sch. Naalya nga muwala wa musuubuzi w’omu Lugazi, Gustine Bukyana ne Milly Nantege ye yafudde.

Bino byabaddewo essaawa ssatu n’ekitundu ez’oku makya g’olwokuna ku kyalo Kikawuula mu tawuni kanso y’e Lugazi.

Nnyina w’omwana yagambye nti amasannyalaze agasse muwala we ga muliraanwa waabwe Ssaalongo Remmy okware.

Yannyonnyodde nti, waya eyo Okware yagiyisa mu kamooli k’enju ye eya ‘Boys Quarter’
ebakubye amabega n’agifulumiza ewaabwe mu lukuubo olubaawula n’agitwaala ate emmanju mu kiyumba ky’enkoko ze.

Yannyonnyodde nti waya ebadde ereebeeta okumala ekiseera era nga buli ab’amasannyalaze lwe bajja bagyemulugunyaako.

Yayongeddeko nti olw’okuba babadde bagiraba ereebeeta, baasazeewo bagiggyewo bagiwanike waggulu kyokka ng’obudde obukikola bwe batafuna okutuusa olwaleero bwe yagambye omu ku baana be omulenzi okugiggyawo kyokka n’alwawo.

Olw’okuba ye Sandra mu buli kimu abadde mwangu, ye kwe kukwata makansi okugisalayo. Okware yakwatiddwa poliisi.

Amasannyalaze gasse omuyizi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...