TOP

Babbye omwana mu maka ga bazadde be e Naalya

Added 29th December 2013

OMWANA ow’emyaka ebiri abbiddwa okuva mu maka ga bazadde be e Naalya ku luguudo oludda e Namugongo emisanattuku. Umar Mubiru taata wa Hanifa Nawerera agamba nti omwana we yabbiddwa ku Lwokutaano nga December 27, nga lwe lunaku lwennyini lwe yawezezza emyaka ebiri egy’obukulu.



OMWANA ow’emyaka ebiri abbiddwa okuva mu maka ga bazadde be e Naalya ku luguudo oludda e Namugongo emisanattuku. Umar Mubiru taata wa Hanifa Nawerera agamba nti  omwana  we yabbiddwa ku Lwokutaano nga December 27, nga lwe lunaku lwennyini lwe yawezezza emyaka ebiri egy’obukulu.

Agamba; ‘ Ku ssaawa 12.00 ez’olweggulo maama w’abaana yagenze  mu siteseni okugula emmere, Hanifa n’amuleka ne munne ow’emyaka ena. Yabadde yaakavaawo ne wajjawo omukyala  n’agamba ow’emyaka ena nga maama wa Hanifa bw’amumutumye era n’amumuwa omukyala n’amukwasa 1,000/- n’asitula omwana n’agenda naye.

Mukyala wange yansanze mu kkubo ne mmulagira okuddayo eka nze ne ng’enda okugula emmere kyokka olwabadde okutuuka awaka ne bamutegeeza ng’omukyala bw’atutte omwana  ne bagenda ku poliisi y’e Kira ne baggulawo omusango nnamba 40/27/12/2013. Alina ky’amanyi asobola okutuukirira poliisi eri okumpi oba okukubira taata w’omwana ku ssimu nnamba 0700367179.

 

Babbye omwana mu maka ga bazadde be e Naalya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.