TOP

Bannayuganda muyiiye na maanyi - Kadaga

Added 21st January 2014

SIPIIKA wa Palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga akubirizza Bannayuganda obutakoowa kuyiiya bintu bipya n’okwongera amagezi n’obukugu mu mirimu gye bakola kibasobozese okwongera ku mutindo ne ku nnyingiza.



SIPIIKA wa Palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga akubirizza Bannayuganda obutakoowa kuyiiya bintu bipya n’okwongera amagezi n’obukugu mu mirimu gye bakola kibasobozese okwongera ku mutindo ne ku nnyingiza.

Bino Kadaga yabyogedde aggulawo ekibiina kya Mau- Kazi e Maganjo n’aggulawo n’akatale.

Yannyikizza obukulu bw’okwetandikirawo emirimu, kikendeeze ku bakaaba nti emirimu gibuze. Kadaga yasuubizza aba Mau-Kazi nti waakubasindikira ab’ekitongole kya UNBS beekebejje omutindo gw’ebintu byabwe bakole ng’omutima gubali wamu.

Akulira ekibiina kya Mau-Kazi, Abdul Kigozi yeeyamye okusomesa abavubuka abalala ku bwereere mu mutima gw’okuzza obumu mu ggwanga.

Aba Mau-Kazi bakola kaawa mu nsigo z’ebibala ssaako ebiriisa, emikeeka, ebibbo, ensawo, obukuufu, omubisi n’ebirala.

Bannayuganda muyiiye na maanyi - Kadaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...