TOP

Lutaaya afulumye akasiki lwa kumuyita mwenzi

Added 24th January 2014

KKOJJA abadde abuulirira Geoffrey Lutaaya mu kasiki k’embaga ye amuyise omwenzi ekimuggyeeko waya ne yeekandagga n’akafuluma ng’agamba nti, ebigambo ebyabadde byogerwa tebiriiko mutwe na magulu.



Bya JOSEPHAT SSEGUYA

KKOJJA abadde abuulirira Geoffrey Lutaaya mu kasiki k’embaga ye amuyise omwenzi ekimuggyeeko waya ne yeekandagga n’akafuluma ng’agamba nti, ebigambo ebyabadde byogerwa tebiriiko mutwe na magulu.

Abantu baasoose ne bakuba enduulu olwa Lutaaya eyayingidde bbaala ya Guvnor mu Angenoir ku Lwokusatu ng’akumba ne mukyalawe Irene Namatovu nga bayimba bombi “Aliba ani oyo alikunkyaya?” Babaadde bawerekeddwaako ‘Bestman’ Godfrey Mitanda ne Annet - metulooni wa Namatovu.

Aboogezi b’akasiki, Meddie Nsereko ne Issa Musoke baayise abayimbi, Mesach Ssemakula, Rema Namakula, Maureen Nantume, Catherine Kusasira n’abalala nabo ne bayimba ennyimba ezibuulirira abagole.

Lutaaya ng’akutte ku ttama.

Lutaaya ng’atandise okuva mu mbeera. 

Mu kaseera katono, omusajja eyeeyise Kkojja Kyagulanyi Kavidiyo yatandise okwogera ng’abuulirira abagole okunyweza empeta nga by’ayogera bingi byabadde biwemula omuli okukuutira Lutaaya nga bw’alina okukonkona oluggi ng’akomyewo ekiro so ssi kulusamba kubanga ayinza okukanga Irene.

Kyokka bwe yagambye nti, ‘Irene oli wa mukisa, Lutaaya aleseewo abakazi bangi b’abadde nabo okulondawo ggwe….n’olwekyo nyweza obufumbo…’ abantu tebaamukkirizza kubimalayo ne beesooza nga bagamba nti, ayogera bya nsimattu ebitta ‘mmuudu’ y’embaga.

Lutaaya yabiyingiddemu n’abuuza Kkojja amulageyo omukazi omu gw’ayogerako ne bimukalira ku matama.

Wakati mu kusoberwa, Kkojja yatunudde mu bbanga, olwo abaabadde ku kabaga ne baleekaanira waggulu nti, “Oyo mumuggyeeko akazindaalo” era aboogezi ne bakamuggyako.

Mu kiseera kino Lutaaya yabadde avudde mu mbeera era yeekandazze n’afuluma ebbaala kyokka Irene n’amwegayirira akomewo nga bw’amusikaasikanya era waayise akaseera katono n’amumatiza ne bakomawo bombi. 

Lutaaya ng'afuluma Gurvnor

Kyagulanyi yazzeemu n’amatiza abategesi bamuddize akazindaalo nga yeeyamye obutaddamu kwogera by’atalinaako bujulizi era ne bakamuwa.  

Wabula ku mulundi guno yatandise okukubawo agagambo aganene ag’omu kisenge era kino kyacankalanyizza Lutaaya ne yeekandagga omulundi ogwokubiri nga bw’agamba nti, ‘Bannange nze nkooye eby’okumpemula….” era wadde ne ku luno Namatovu yagezezzaako okumuwooyawooya, yabigaanyi nayimirira ku mulyango gwa bbaala ne Muko Mitanda.

Abantu baanenyezza Kkojja olw’okucankalanya abagole ng’ayogera ebitatuukana na mukolo, kyokka ne yeewozaako nti obubaka bw’awa tebugendererwamu kusanyusa bantu wabula kussaawo musingi gw’amaka omunywevu ogwesigamiziddwa ku mazima, obuvunaanyizibwa, obutangaavu n’obwenkanya.

Ssaawa ya kusala ddansi. Flavia Namulindwa owa Bukedde Ttivvi (wakati) ng’azina n’abadigize abalala.

Ebiwala ebidigize nga biri mu bbaala.

‘Zibabbiri’ awemudde abagole n’abawuniikiriza

“ NAYE baana mmwe abagenda okugattibwa mumanyi engeri entuufu ey’okuteeka ekyuma mu ssigiri?”, bw’atyo ssenga Justine Nantume eyakazibwako erya ‘Zibabbiri bwe yatandise’omusomo’ gw’okutendeka Irene Namatovu ne bba Lutaaya bwe baabadde ku kasiki kaabwe ku Lwokusatu ekiro ku Guvnor.

Nantume okutandika ‘omusomo’ gwe, Dj yasoose kukubawo luyimba olwo abadigize ne badda mu ddiiro okusala ddansi.

Mu kiseera kino Lutaaya yabadde akyali ku mulyango gwa bbaala oluvannyuma lwa Kkojja Kyagulanyi okumunyiiza olw’okwogera eby’ensimattu ng’alinda awulire bassenga bye banaababuulirira.

Bakira abadigize basala endongo ng’abamu bwe balaba omupiira gwa Man U, era bwe baagiwangudde abamu baalabise nga kibayisizza bubi, olwo ssenga Justine mu ngeri y’okubazza mu muudu ng’ali wamu ne ssenga Hamida ne basumulula omusomo ogwabadde gujjudde ebigambo ng’ebimu byabadde bizito. 

Justine Nantume Zibabbiri ne Ssenga Hamidah

Bano baakuutidde Irene obutakwatanga peneti za Lutaaya z’anaabanga asimudde, nga bakyaddeko e Namboole.

Ku ntandikwa bassenga ebigambo baabadde babisabika bulungi, wabula we zaaweredde ssaawa 7:00 mu ttumbi ne batandika okubikubawo nga bwe basanze, ekyawalirizza Lutaaya okufulumira ddala akasiki ng’akutte ku mutwe nga bwe yeekokkola kye yayise obuseegu obw’ebbaluwa.

Leero akasiki ka Lutaaya akalala kali mu bbaala ya Ambience e Masaka ate ku Lwomukaaga y’embaga e Mityebiri. Baakugattibwa mu kkanisa ya Kijjabwemi Church of Uganda.

Lutaaya afulumye akasiki lwa kumuyita mwenzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu