TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Ffena tuzuukuke mu ttulo, tukolerere okutumbula ebyenfuna by'eggwanga lyaffe'

'Ffena tuzuukuke mu ttulo, tukolerere okutumbula ebyenfuna by'eggwanga lyaffe'

Added 26th January 2014

PULEZIDENTI Museveni asabye Bannayuganda bave mu ttulo, bazuukuke bakole n’amaanyi okwekulaakulanya ng’abantu n’okukulaakulanya eggwanga lyabwe.



Bya Ahmed Mukiibi

PULEZIDENTI Museveni asabye Bannayuganda bave mu ttulo, bazuukuke bakole n’amaanyi okwekulaakulanya ng’abantu n’okukulaakulanya eggwanga lyabwe.

Bino Museveni yabyogeredde Mayuge ku mikolo gy’eggwanga egy’okukuza emyaka 28 bukyanga NRM ejja mu buyinza nga gyetabiddwako ebikonge mu Gavumenti, ababaka b’amawanga ag’ebweru n’ebikumu n’ebikumu by’abantu ba bulijjo.

Museveni yategeezezza nti , “ ffena tuzuukuke mu ttulo, tukolerere okutumbula ebyenfuna by’eggwanga lyaffe”.

Mu biseera ebijja, Museveni yagambye omulamwa gw’eggwanga gugenda kubeera; okusitula omutindo gw’obuweereza, okubunyisa enguudo , amasannyalaze n’okwekulaakulanya kw’abantu nga batumbula ennnyingiza mu maka.

Pulezidenti yalangiride enkyukakyuka mu Pulogulaamu ya NAADS, n’agamba nti ng’oggyeeko abalimisa n’abakozi ab’emirimu egy’ekikugu, abakozi ba NAADS bonna abasigadde bagenda kugobwa, ssente ezibadde zisaasaanyizibwa ku emisaala zigulibwemu endokwa n’ebikozesebwa mu mulimi n’obulunzi.

Ku lutalo lw’e Sudan, Museveni yagumizza Bannayugana nti ekiseera kyonna lugenda kuggwa baddemu okukakkalabya emirimu gyabwe egy’obusuubuzi n’agamba nti omulimu UPDF gw’ekola mu South Sudan gwa ttendo.

Pulezidenti yabuuliridde abantu okwekuuma endwadde ezisobola okwewalika naddala eziva ku bujama, enneeyisa embi n’endya embi ze yagambye nti zitwala ssente okuzijjanjaba so nga zisobola okwewalika.

Muve mu tulo, muzuukuke mukole na maanyi- Pulezidenti Museveni

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...