TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti esingisizza Kalungi ogw''okutta omubaka Nebanda

Kkooti esingisizza Kalungi ogw''okutta omubaka Nebanda

Added 31st January 2014

ADAM Sulaiman Kalungi, kkooti emusingisizza omusango gw''okutta mu butanwa eyali omubaka mu Palamenti Cerinah Nebanda era Gavumenti n''esaaba bamusibe mayisa.



BYA ALICE NAMUTEBI

ADAM Sulaiman Kalungi, kkooti emusingisizza omusango gw'okutta mu butanwa eyali omubaka mu Palamenti Cerinah Nebanda era Gavumenti n'esaaba bamusibe mayisa.

Omulamuzi Esta Nambayo, owa kkooti e Makindye yategeezezza nti okusinziira ku bujulizi bw'abantu 21 oludda oluwaabi lwe baaleeta, kyeraga lwatu nti Kalungi yalemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga muganzi wa Nebanda bwe yamulagajjalira bw'atyo n'afa!

Omulamuzi Nambayo era yagambye nti yadde nga Kalungi oluvannyuma lw'okusanga Nebanda ng' ali mu mbeera mbi yagezaako okumutwala mu ddwaliro nga wayise essaawa 2 ng'atya bannamawulire okumulaba, ekikolwa kino kyali kikyamu nnyo kubanga okulwawo kwe, kwaviirako Nebanda okufa.

Wabula omulamuzi yejjeerezza Kalungi omusango gw'okuwa Nebanda enjaga bw'agambye nti yadde ng'abasawo abakebera omugenzi baakizuula nti yali enjaga n'omwenge bye byamuviirako okufa, oludda oluwaabi terwaleese bujulizi bwonna bukikakasa ate nga ne Nebanda yali muntu mukulu asobola okwewa ekintu kyonna.

Omulamuzi Nambayo yagenze mu maaso n'asingisisa ne munne Ali omal omusango gw'okusangibwa n'enjaga oluvannyuma lw'omutegeeza nti yalemererwa okunnyonnyola kkooti lwaki era kiki kye yali akozesa enjaga gye baamusanga nayo etakkirizirizibwa mu mateeka .

Bannaabwe abalala bana okubadde; Noor Abubakar, Khan Babu, Abdul Abid Rashid Butt ne Ms Fatuma Babu kkooti ebejjeereza omusango gw'okutambuza enjaga saako n'okugiwa Nebanda, omulamuzi bwe yagambye nti oludda oluwaabi lwalemererwa okuleeta obujulizi.

Oluvannyuma lw'okusoma ensala ye, oludda oluwaabi olubadde lukumbeddwa Andrew Oditi lusabye omulamuzi awe Kalungi ekibonerezo ky'okusibwa amayisa kubanga yakomya obulamu bw'omubaka .

Ate ye munnamateeka wa Kalungi, Nsubuga Mubiru asabye omulamuzi abeere wa kisa eri Kalungi amusasuze fayini oba okumulabula kubanga yagezaako nga bwe yali asobola okutaasa Nebanda kyokka okutya kwe obutamuswaza mu bannamawulire, yakomekkereza amufuddeko.

Omulamzi yategeezezza nti k'asooke yekkaanye ensonga z'enjuyi zombi, nga February 7 2014 awe Kalungi ne munne ebibonerezo ebibagyamu.

Nebanda ng'ono yali mubaka omukyala owa disitulikiti y'e Butalejja yafa nga 14 December 2012 mu ddwaaliro lya Mukwaya General Clinic gye yali atwaliddwa oluvannyuma lw'okwewa enjaga eyamuviirako ebitundu by'omubiri gwe ebyamaanyi okukola.

Kkooti esingisizza Kalungi ogw''okutta omubaka Nebanda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....