TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi ababadde badda ku masomero basimattuse akabenje

Abayizi ababadde badda ku masomero basimattuse akabenje

Added 4th February 2014

ABANTU 14 basimatuse okufiira mu kabenje takisi kigege nnamba UAT 727D ebadde eva e Kiruhura okudda e Kampala bw'eremeredde omugoba waayo n'ewaba ne yeefuula n'egwa mu luwonko.



Bya PADDY BUKENYA NE SIMON SSEKIDDE

ABANTU 14 basimatuse okufiira mu kabenje takisi kigege nnamba UAT 727D ebadde eva e Kiruhura okudda e Kampala bw'eremeredde omugoba waayo n'ewaba ne yeefuula n'egwa mu luwonko.

Akabenje kano kaguddewo enkya ya leero ku kyalo Kavugga - Mpigi ku luguudo lw'e Masaka wakati mu nkuba ebadde efudemba.

Emmanuel Karuhanga omu babadde mu mmtoka efunye akabenje ategeezeza nti mmotoka eno ebadde ku misinde gya yiriyiri era omugoba waayo atuuse ekiseera nga takyalaba gy'alaga olw'enkuba ebadde etonnya kwe kugezaako okusiimuula endabirwamu y'omumaaso kyokka mmotoka n'emuremerera ne yeefuula n'egwa mu luwonko.

Ku balumizibwa kubaddeko n'abayizi abaabdde baddayo ku masomero okutandika olusoma olusooka nga n'ebintu byabwe omubadde emifaliso n'ebitabo byonoonese ate ebirala ne bibbibwa abadduukirize.

Abalumizibwa kuliko; Natukunda Winnie,22, Alibyona Shakib ,20, Ssekamaanya Denis, 21, Baligye Alex ,19,Karuhanga Emmanuel 18, Kamukama Syson, Kamugisha Ritah, Kankunda Caroline, Tusingwiire Besita, ne Akankwatsa Genid . Abayizi ababadde badda ku masomero abalumiziddwa kubaddeko; Tukamushabe Goreth ,14, omuyizi mu Ntebe Primary School, Kangyera Gerald, 18, asomera Burembe Secondary School, ne Alinebyona Akib abadde adda ku ssomera lya White Angels e Ntebe.

Abaserikale ba Poliisi y'ebidduka nga bayamba omu ku baafunye ebisago okutwalibwa mu ddwaaliro.

Omuduumizi wa Poliisi y'ebidduka e Katonga, Gamal Abdul Khalid, akakasiza akabenje kano n'ategeeza nti Poliisi ekyanoonyereza ku kituufu ekiviriddeko akabenje kano.

Alabudde abavuzi b'ebidduka okwewala okuvugisa ekimama n'endiima naddala mu biseera bino eby'okuzza abaana mu masomero.

Abalumizibwa badusibwa mu dwaliro lye Mpigi okufuna obujanjabi gyebagyibwa nebongerwayo mu dwaliro e mulago ku kabangali ya polisi oluvanyuma lwa abyulensi okubanga yabadde teriwo.

Abayizi ababadde badda ku masomero basimattuse akabenje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...