TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nansi eyasiiga omwana siriimu agaaniddwa okweyimirirwa

Nansi eyasiiga omwana siriimu agaaniddwa okweyimirirwa

Added 7th February 2014

NAANSI agambibwa okusiiga omwana siriimu bweyamufumisa empiso gyeyali amazze okwefumita, kkooti emugaanye okweyimirirwa.



BYA ALICE NAMUTEBI
NAANSI agambibwa okusiiga omwana siriimu bweyamufumisa empiso gyeyali amazze okwefumita, kkooti emugaanye okweyimirirwa.

Rosemary Namubiru 64 eyabadde ategeezezza omulamuzi Olive Kazaalwe nti okusinziira ku mbeera gyalimu [eyokubeera nga mulwadde wa siriimu] saako n'emyaka gyalimu egy'obukulu, tasobola kubeera mu kkomera e Luzira kuba yetaaga obujanjabi

Omulamuzi Kazaalwe yagobye okusaba kwe bweyamutegeezezza nti ne mu kkomera e Luzira waliyo obujanjabi bwa kawuka kano era namugamba nti n'okusinziira ku buzito bw'omusango ensonga y'emyaka tekola makulu era nalagira azzibweyo ku alimanda.

Namubiru yaggulwako omusango gw'okugezaako okutta omwana Mathew Mushabe bwayamukuba empiso gyeyali amaze okwefumisa kyokka ng’akimanyi nti mulwadde wa siriimu.

Namubiru nga musawo mu ddwaliro lya Victoria Medical Center erisangibwa ku poloti 52 ne 54 ku Lumumba Avenue mu Kampala yegaana omusango guno. Omusango guddamu nga February 11 2014.

Nansi eyasiiga omwana siriimu agaaniddwa okweyimirirwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...