TOP

Akabenje e Kayunga katuze basatu

Added 8th February 2014

ABANTU basatu bafiiridewo mbulaga n’abalala ne batwalibwa mu malwariro ag’enjawulo nga bataawa takisi mwe baabadde batambulira bwetomereganye ne loole y’omusenyu e Namyoya ku luguudo lw''e Bugerere.



Bya Steven Musoke ne Amon Mukasa

ABANTU basatu bafiiridewo mbulaga n’abalala ne batwalibwa mu malwariro ag’enjawulo nga bataawa takisi mwe baabadde batambulira bwetomereganye ne loole y’omusenyu e Namyoya ku luguudo lw'e Bugerere.

Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa 11.00 ez'oku makya, takisi namba UAT 502E ebadde eva e Bugerere bweremeredde omugoba waayo n'etomera loole y'omusenyu namba UAK 196E.

Abantu basatu bafiiriddewo n'abalala ne batwalibwa mu malwaliiro ag'enjawulo nga bali mu mbeera mbi. Kondakita wa takisi ayitibwa Kamoga y'omu ku baafiiriddewo n'abawala abalala babiri abatategeerekese mannya gaabwe okuva bwe batabadde nabiwandiiko biboogerako.

Aduumira Poliisi y'e Naggalama ASP John Bosco Sserunjogi agamba nti akabenje kano kaavudde ku mugoba watakisi abadde avugisa ekimama ng'ate oluufu lukyakutte.

Omu kubeerabiddeko n'aagaabwe ng'akabenje kano kagwawo Martin Okala yategeezezza nti takisi zaabadde ssatu nga zigobagana okusanga abasaabaze e Nakifuma kyokka ebbiri ne ziyisa bulungi ekimotoka kino ng'eno ey'okusatu yoyakyekanze ne kiyingirira.

Akabenje e Kayunga katuze basatu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.