TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababbi balumbye essundiro ly'amafuta ne batta omuduumizi wa poliisi

Ababbi balumbye essundiro ly'amafuta ne batta omuduumizi wa poliisi

Added 16th February 2014

BAZZE abasajja musanvu nga buli omu akutte emmundu era olwabadde okutuuka ku ssundiro ly’amafuta ne balisalako wamu ne supamaketi ne mobayiro mmane eriraanyeewo olwo ne batandika okunyagulula ku ssaawa 5:00 mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.




Bya PATRICK TUMWESIGYE NE PHIONA NABADDA
BAZZE abasajja musanvu nga buli omu akutte emmundu era olwabadde okutuuka ku ssundiro ly’amafuta ne balisalako wamu ne supamaketi ne mobayiro mmane eriraanyeewo olwo ne batandika okunyagulula ku ssaawa 5:00 mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.

Abapoliisi bwe bazze okutaasa, olwo amasasi ne gatandika okunyooka okukkakkana ng’aduumira poliisi y’e Kajjansi ababbi bamusse.

ASP Joseph Bigirwa abadde amaze mu poliisi emyaka essatu gyokka, attiddwa mu bukambwe ababbi abaabadde balumbye essundiro ly’amafuta erya Gaz e Kajjansi bwe baamukubye amasasi agaamuyuzizza olubuto n’ekifuba, bwe yabadde agezaako okutaasa abakozi b’ekifo kino.

Essundiro ly’amafuta ababbi lye baalumbye.

AKULIRA POLIISI Y’E KAJJANSI EDSON MUGANZI ANNYONNYOLA EBYABADDEWO:
Ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro ekyakesezza ku Lwomukaaga, ababbi baalumbye essundiro ly’amafuta okuli supamaketi ne mobayiro mmane ne batandika okunyaga ssente, baabadde musanvu nga bonna babagalidde emmundu.

Abataano be beenyigidde mu bunyazi kyokka bannaabwe babiri ne basigala nga beekwese nga balawuna okukakasa ng’abali mu bubbi tebafuna mutawaana gwonna.

Omu ku bavubuka abatunda amafuta yagezezzaako okulwanagana n’ababbi ng’agaana okubawa ssente era wano ababbi we baamukubidde essasi ku kugulu.

Bigirwa eyabadde okumpi n’ekifo kino yawulidde essasi n’akubira abaserikale ba poliisi e Kajjansi ng’abasaba okusindika abaserikale bazuule ekigenda mu maaso.

Kyokka baabadde tebannatuuka n’alaba ng’olutalo mu kifo kino lwa maanyi n’asalawo okusembera mpola ataase abantu.

Yabadde alaba babbi baabadde ku ssundiro ly’amafuta kyokka nga waliwo abalala abeekwese okumpi n’ekifo kino.

Yaggyeyo basitoola n’akuba essasi mu bbanga mu ngeri y’okutiisa era wano ababbi ababiri abaabadde basigadde ku mabbali kwe kumukuba amasasi agaamusse. Abapoliisi bagenze okutuuka ng’ababbi bamaze okudduka nga Bigirwa attiddwa.

Mmotoka ababbi gye baawambye ku Sarah Kintu ne baddukiramu.

Ababbi banyaze13,000,000/- okuva ku mobayiro mmane, abatunda amafuta babadde bakabalako 820,000/- ezaabanyagiddwaako.

Mu kavuvung’ano kano Yusuf Mubiru yakubiddwa amasasi mu kugulu, ajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mulago.

Ababbi bwe baamaze okunyaga ne bawamba mmotoka ku mukyala eyabadde agenze ku supamaketi ayitibwa Sarah Kintu, (Raum UAS 875J) gye badduukiddemu kyokka oluvannyuma baagisudde e Katale ku mabbali g’oluguudo nga n’ebisumuluzo baabireseemu.

Nannyini kifo kino tuludde nga tumulabula okwongera obukuumi mu kifo kye kyokka n’aziimula ng’omuntu akola obukadde bw’ensimbi emisana n’ekiro talina nsonga emugaana kufuna musirikale wa mmundu n’akuumisa ab’obusaale.

KIBIRIGE MOSES EYABADDEWO:
Nabadde ku bbaala era saalabye babbi engeri gye bazzeemu kyokka nawulidde masasi nga gavuga mu kutya ffenna twagezezzaako okulaba ekigenda mu maaso.

Twalabye omuntu attiddwa nga tetwasoose kutegeera nti muserikale okuva bw’ataabadde mu byambalo.

Mu bbanga ttono ababbi baalinnye mmotoka ne bavuga nga badda e Kampala. Akaseera kaabadde kazibu kuba buli muntu yabadde tamanyi kigenda mu maaso wabula nga tuli mu kutya.

Abaserikale bazze nga bangi era twasembedde mpolampola olwo ne tukizuula nti eyattiddwa yabadde muserikale ng’abaamusse baabadde babbi abaabadde balumbye essundiro ly’amafuta.

OMUSERIKALE OMULALA EYATTIDDWA:
Nelson Tugume ow’ekitongole kya poliisi ekirwanyisa ebikolwa eby’ekizigu ekya Flying Squad ng’akolera ku poliisi y’e Kawempe, yattiddwa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde mu Kakajjo Nalumunye ekisangibwa e Nsangi.

Tugume yattibwa wakati mu kuwanyisiganya amasasi n’ababbi, nga poliisi yasobodde okutta ababbi babiri Christopher Nnyanzi ne Martin Mwebaze ne babasuuza ne mmundu eyekika kya SMG.

Ababbi bano baabadde n’emisango gy’obubbi egibavunaanibwa ku poliisi e Kawempe. Poliisi ekyagenda mu maaso n’okuyigga ababbi bano ng’abaserikale ba poliisi ababiri abaalumiziddwa mbeera yaabwe egenze erongooka.

Ababbi balumbye essundiro ly’amafuta ne batta omuduumizi wa poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...