
BYA HANNINGTON NKALUBO
ABAKULEMBEZE ba NRM mu Kampala Central batandise okunoonya omukulembeze asobola okudda mu bigere by’omubaka Mohammed Nsereko eyagobeddwa kkooti singa okujulira kwe kugwa butaka.
Ssentebe wa NRM, Salim Uhuru ayise olukiiko lw’abakulembeze banne ku kitebe ky’ekibiina ekiri ku luguudo lwa Kyaddondo wiiki eno bateese ekiddako.
Yagambye nti Nsereko abadde musajja nnyo mu Kampala Central era singa ebya kkooti birema, tebalina mukulembeze yeetegese gwe basobola kusimbawo mangu n’akola nga bwe baagala.
“Mpise olukiiko tutandikirewo entegeka z’okulaba ng’ekifo NRM eddamu okukiwangula,” Uhuru bwe yagambye.
N’ategeeza nti wadde Nsereko babadde baamugoba dda ku bukulembeze bw’ekibiina, naye akyalina obuwagizi bunene
mu Kampala Central.
Kiddiridde kkooti okugoba ababaka ba Palamenti bana mu bifo byabwe ng’entabwe eva ku kujeemera mateeka agafuga ekibiina kyabwe. Bano kuliko; Theodore Ssekikubo, Mohamed Nsereko, Barnabas
Tinkasimire ne Wilfred Niwagaba. Kyokka baawakanyizza ensalawo ya kkooti ne balagira balooya baabwe bajulire mu kkooti esingako.
Aba NRM mu Kampala banoonya anadda mu bigere bya Nsereko