TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alabudde abavubuka okukomya okukopperera emize gy'Abazungu

Museveni alabudde abavubuka okukomya okukopperera emize gy'Abazungu

Added 25th February 2014

PULEZIDENTI Yoweri Museveni alabudde abavubuka obutamala gakopperera mize gy’Abazungu omuli okukozesa emimwa emizannyo gy’ekikaba n’abalabula nti bajja kwenaawuulira endwadde nga kookolo w’omu mimiro n’enziku y’omu kamwa.



Bya AHMED KATE REGGA

PULEZIDENTI Yoweri Museveni alabudde abavubuka obutamala gakopperera mize gy’Abazungu omuli okukozesa emimwa emizannyo gy’ekikaba n’abalabula nti bajja kwenaawuulira endwadde nga kookolo w’omu mimiro n’enziku y’omu kamwa.

Museveni yagambye nti ng’oggyeeko okunyegeragana, emimwa (kissing) tegisaanidde kukozesesebwa mu muzannyo gwa bukaba gwonna, kubanga Mukama Katonda, buli kitundu kya mu biri yakikolera olubimbi lwakyo ng’emimwa ogwagyo kulya na kunywa awamu n’okwogera so ssi kuzannyisibwa mizannyo gya kikaba.

“Ffe Abaddugavu Mukama Katonda yatuwa ekitone ekya sitayiro ez’ekinnansi, kamala nga ka Musoga, ate ezimu tezikoma ku kunyuma bunyumi kyokka, naye era nnyonjo awamu n’okwongera obulamu mu bazizannya,” Museveni bwe yasoosootodde emboozi ya kojja w’abaana n’enyumiraabawuliriza.

Yabadde ku mukolo gw’okussa omukono ku tteeka ery’okulwanyisa ebisiyaga gwe yakoledde mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe eggulo. Yayise bannamawulire n’addala abebweru n’addamu ebibuuzo.

Pulezidenti Museveni ng’assa omukono ku tteeka ly’ebisiyaga. ku ddyo ye minisita w’ebyobulamu, Ruhakana Rugunda.

Yagambye nti yali asoose okugaana okussa omukono ku tteeka lino ng’alowooza nti ng’oggyeeko abapangisa abantu okusaasaanya omuze gw’ebisiyaga mu Afirika n’abo abagukola mu kwetunda nga bamalaaya.

Yagambye nti yali alowooza nti eriyo abazaalibwa nga basiyazi, awamu n’abalwala obulwadde obwo ogatteko n’ababulemaliramu.

...................................................................................................................................................

Ebirala....

............................................................................................................................................................

“Kyokka kasita twayise abasawo abakugu munda mu ggwanga n’ebweru ne bang’amba nti tewali azaalibwa nga musiyazi, teri alwala bulwadde obwo era teri mulema waabwo, nange sironzezzalonzezza, okuggyako okussa ku tteeka lino omukono,” Museveni bwe yategeezezza.

Bino waabikoledde nga Pulezidenti Barack Obama owa Amerika amaze okumulabula nti bw’alissaako omukono, omukwano n’enkolagana wakati w’amawanga gombi gusobola okugootaana.

Museveni yamwanukudde nti akome okumuwa ebiragiro kubanga Uganda ggwanga eryasajjakula edda eririna okwesirawo.

Bannayuganda bangi naddala bannadiini n’abataka basanyufne Pulezidenti ku tteeka kino.

Museveni alabudde abavubuka okukomya okupperera emize gy''Abazungu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...