TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka abaagobwa: Ensala ya kkooti ey''oku ntikko ya Lwakuna

Ababaka abaagobwa: Ensala ya kkooti ey''oku ntikko ya Lwakuna

Added 4th March 2014

Kkooti y''oku ntikko erangiridde nga 6th, March, 2014 lw''egenda okuwa ensala yaayo oba ababaka abagobwa mu Palamenti basigala mu bifo byabwe.



 

Bya Frank Lukwago

Kkooti y'oku ntikko erangiridde nga 6th, March, 2014 lw'egenda okuwa ensala yaayo oba ababaka abagobwa mu Palamenti basigala mu bifo byabwe.

Enkya ya leero ababaka bakyewaggula abaagobwa mu Palamenti okuli; Thedore Sekikubo, Muhammed Nsereko, Wilfred Niwagaba ne Barnabus Tinkasimire bakedde kugasimbagana n’abalamuzi ba kkooti ey’oku ntikko mu kujulira kwe baateekayo nga bagisaba eyimirize akakiiko k’ebyokulonda kaleme kutegeka kulonda kwa kujjuza bifo byabwe.

Abalamuzi 5 aba kkooti ey'oku ntikko okuli; John Wilson Tsekoko, Benjamin Odoki, Christine Kitumba, Galdino Okello ne Stellah Arach Amoko be basazeewo okuwa ensala yaabwe ku Lwokuna nga 6th, Marchg, 2014 oluvannyuma lw'okuwulira okusaba kw’abaali ababaka bano ku ssaawa 3 ez’oku makya.

Kyokka wabaddewo katemba ng'okuwulira omusango guno kugenda mu maaso omu ku bapuliida b'ababaka bakyewaggula, George Kanyeihamba, bwe yeekandazze n'afuluma kkooti n'ekiddiridde babaka ababaka ne bamunaabira mu maaso ne bamuggya ku lukalala lwa bapuliida ababawolereza ne basigaza bapuliida aboolulango babiri okuli Caleb Alaka nePeter Walubiri.

Gye buvuddeko, abalamuzi 4 aba kkooti etaputa Ssemateeka baasalawo ku babaka nti baali tebakyalina kifo kyonna mu palamenti kubanga tebamanyiddwa wa we bagwa oluvannyuma lw’ekibiina mwe bajjira ekya NRM okubagoba.

Ababaka abaagobwa: Ensala ya kkooti ey''oku ntikko ya Lwakuna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu