
BYA ALICE NAMUTEBI
LOODI meeya Erias Lukwago ategeezezza nga bw'agenda okuvunaana ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda singa akalambira n’agenda mu maaso n’eteekateeka z’okujjuza ekifo kye ng'awakyaliwo ekiragiro kya kkooti.
Bino Lukwago abyogeredde mu bbaluwa gy'awerezza ssentebe w'akakiiko k’ebyokulonda Ying. Badru Kigundu , n'agiweerezako n'omuwandiisi wa kkooti enkulu, Charles Emuria saako ne minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kamapala, Frank Tumwebaze.
Lukwago agamba nti agenda kuvunaana Kiggundu lwa kunyomoola ebiragiro bya kkooti singa kamutanda n'agenda mu maaso n’okulonda kubanga ekiragiro ekyayisibwa amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu, Fred Waninda omwaka oguwedde, ekyali kiyimiriza bakansala ba KCCA ne minista wa Kampala, Frank Tumwebaze okukuba akalulu ku loodi meeya akamuggyamu obwesige tekisazibwangamu era kikyakola.
Lukwago era agamba nti ye akimanyidde ddala bulungi nti akyali loodi meeya wa Kampala kubanga n’omusango gwe yateekayo nga awakanya alipoota y’omulamuzi Bamugemereire eyamusingiisa egimu ku misango egyamuggulwako bakansala gugenda kuwulibwa omulamuzi Nyanzi.
................................................................................................................................
Ebirala ku Lukwago.......
.................................................................................................................................
Lukwago atwala Kiggundu ow;ebyokulonda mu kkooti