TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olumbe olutategeerekeka luzinze ebyalo e Kalungu

Olumbe olutategeerekeka luzinze ebyalo e Kalungu

Added 30th March 2014

POLIISI n’abakulembeze mu Kalungu balabudde abatuuze abasattira olw’olumbe olukuba abantu ne baggwaamu amaanyi nti tebagezaako okutwalira amateeka mu ngalo ku be bateebereza okubasindikira ebyawongo.Bya SSENNABULYA BAAGALAYINA
POLIISI n’abakulembeze mu Kalungu balabudde abatuuze abasattira olw’olumbe olukuba abantu ne baggwaamu amaanyi nti tebagezaako okutwalira amateeka mu ngalo ku be bateebereza okubasindikira ebyawongo.

Kino kiddiridde akasattiro okubaawo ku byalo Kampuuki ne Bulwadda mu Ggombolola y’e Kyamuliibwa e Kalungu, ng’abatuuze balumiriza banaabwe okubaleetera ebyokoola ebibatuusizzaako olumbe
olubatawaanya.

Abafumbo Matia Ssekitto ne mukyala we Annet Nnanyondo Kawuka be balumiriza, beesamudde
ebiboogerwako nti ezo mpalana z’abantu.

Wano akulira poliisi y’e Kyamuliibwa, IP Patrick Maikula we yasinzidde mu lukung’aana olwayitiddwa n’alabula abatuuze obutabaako kye bakola kuba ebyogerwa nti mayembe oba eddogo mpaawo asobola
kubiwaako bujulizi mu kkooti.

Yabasabye ensonga z’obulwadde obuluma abantu baabwe baleme kuzeesigamya mu ndowooza ya ddogo wabula babatwale mu malwaliro.

Ate ssentebe Musoke yawabudde abatuuze bano nti obulwadde bw’omusujja bwe bulinnya ku mutwe gw’omuntu bumuleetera akalogojjo n’olwekyo tebateekwa kubutuumirawo nti ‘mayembe’ ate ne bagateeberezaawo nti gasindikiddwa gundi, Musoke n’abawa amagezi nti abalwadde babatwale mu malwaliro ag’ekizungu beekebejjebwe.

Abasawo b’ekinnansi Ssewaya, Ronald Kasumaali Bbosa ne Abdallah Kabuye baasabye abatuuze akakadde kamu n’ekitundu, endiga ennume, embuzi bbiri n’enkoko bbiri balyoke babasimbulirewo
emiteego gyonna mu kitundu.

Ye omusomesa Ssande Ssemigomo owa Bulwadda P/S agattako nti abayizi abatawaanyizibwa
olumbe luno be ba Mary Nangoonzi P.7, Jacque Nakyeyune P.4, Ronald Bwanika P.3, Sarah Nalubega
P.7 ne Alice Namanda P.6.

Ate abantu abakulu be ba: Jalia Naiga ng’ono agamba nti bwamuttidde obufumbo bwe ewa Bikwalira Kafeero e Katooke mu Wakiso, omuzadde Edith Nalusiiti 45, muka Charles Ssewaali ne Sylivia
Namata.

Bagamba nti olumbe bwe lubalinnya ku mutwe nga baggwaamu amaanyi ng’abamu lubazirisa abagakaaba ne bagakaaba okutuusa bwe badda engulu nga kitwalidde ddala omwezi mulamba nga
bali mu mbeera eno.

Olumbe olutategeerekeka luzinze ebyalo e Kalungu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...