TOP

Kibwetere ne banne bandiba e Malawi - Poliisi

Added 2nd April 2014

Gen. Kale Kayihura ategeezezza nti poliisi yatemezeddwaako nga Joseph Kibwetere ne banne abaayokya abantu e Kanungu n’e Buziga mu Kampala bwe bateeberezebwa okuba e Malawi.



BYA AHMED KATEREGGA

Gen. Kale Kayihura ategeezezza nti poliisi yatemezeddwaako nga Joseph Kibwetere ne banne abaayokya abantu e Kanungu n’e Buziga mu Kampala bwe bateeberezebwa okuba e Malawi.

Ng’ayogerera mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda n’ensonga ez’omunda ku Lwokusatu, Gen. Kayihura, eyabadde n’omumyuka w’akulira bambega, John Musana, eyakolera ddala okunoonyereza kuno, yagambye nti baasooka kubanga nti Kibwetere ne banne omuli Credonia Mwerinde, Angelina Mugisha, Fr. Joseph Kasapurari ne Fr. Dominic Kataribabo baali beekukumye Tanzania, ne babanoonyaayo , ensonda endala ne zibategeeza nti badda Rwanda , nayo ne batuukayo, abalala nti bali Kenya nayo ne batuukayo nga tebakubwako kimunye!

“Kati baatugambye nti bali Malawi, era nayo tugenda kubafeffettayo,” Kayihura bwe yategeezezza.

Wabula ababaka tebaamatidde ng’abamu bagamba nti waliwo obujulizi okuva ku booluganda lw'abagenzi abagamba nti ebisigalira by'emirambo gy'ab'enganda zaabwe abaasirikira mu muliro poliisi tebyekebejjanga kuzuula kituufu.

Gen. Kayira yagambye nti ekiragiro ky’okukwata Kibwetere ne banne yonna gye beekukumye kyayita dda era Poliisi y'ensi yonna (Interpol) ekimanyi nti Kibwetere ne banne bayiggibwa.

Joseph Kibwetere y'ani?

  • Joseph Kibwetere ye yali akulira ekibinja ky'enzikiriza ya The Movement for the Restoration of the Ten Commandments of God.
  • Nga 17 March 2000 abantu 1000 be baafira mu nnabbambula w'omuliro mu ssinzizo lya Kibwetere e Rukungiri ( kati Kanungu disitulikiti).
  • Kibwetere yali musomesa wa Pulayimale era yakolako nga amyuka omulabirizi w'amasomero mu Ssaza lya Mbarara Catholic Diocese.
  • Yalina abaana 16 nga basatu ku bbo yabazaala mu bakazi abatali bagatte mu bufumbo butukuvu.
  • Yeyayingiza Credonia Mwerinde n'abakyala abalala babiri okuli; Angelina Mugisha ne Ursula Komuhangi mu ddiini ye.

 

Kibwetere ne banne bandiba e Malawi - Poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...