TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaagala ekifo ky'omubaka omukazi owa Luweero baweze 4

Abaagala ekifo ky'omubaka omukazi owa Luweero baweze 4

Added 5th April 2014

BANNALUWEERO bali mu keetalo ka kuddamu kulonda mubaka omukazi ow’ekitundu kino omulundi ogwokusatu mu kisanja kye kimu oluvannyuma lw’ababaka be bazzenga balonda okuwawaabirwa ne baggyibwa mu palamenti.



Bya SAMUEL KANYIKE

BANNALUWEERO bali mu keetalo ka kuddamu kulonda mubaka omukazi ow’ekitundu kino omulundi ogwokusatu mu kisanja kye kimu oluvannyuma lw’ababaka be bazzenga balonda okuwawaabirwa ne baggyibwa mu palamenti.

Mu kulonda okwaliwo mu 2011, Rebacca Nalwanga (NRM) yamegga banne omusanvu abaali beesimbyewo kyokka teyabugumya kifo n’awawaabirwa omu ku bwe baali beesimbyewo naye, Dr. Elizabeth Nabatanzi nti yagulirira abalonzi omusango ne gumusinga kkooti n’eragira okulonda kuddibwemu.

Okulonda kw’okujjuza ekifo kwategekebwa mu November 2011 nga kwetabwamu ab’ebibiina eby’enjawulo ekyali kitabangawo mu Luweero NRM gye yeegiriisiriza era okukakkana nga munna DP, Brenda Nabukenya eyali asoose okuttunka ne Ying. Abraham Byandaala mu Katikamu North n’awangulwa, ng’ekifo ekitutte.

Nalwanga yawakanya okusingibwa n’obululu 30 n’asaba akakiiko k’ebyokulonda kaddemu okubala obululu ng’agamba nti waliwo emivuyo egyalimu ne keerema n’agenda mu kkooti gye yawangulira omusango. Nabukenya yajulira era omwezi oguwedde okujulira kwe ne kugobwa Kkooti Enkulu n’eragira akakiiko k’ebyokulonda okulonda kuddibwemu.

Oluvannyuma lwa bino abantu bana beesowoddeyo okuvuganya ku kifo kino nga mwe muli; Brenda Nabukenya (DP), Rebecca Nalwanga (NRM), Jamiya Senkanja ng’ono ye ssentebe w’oluliiko lw’abakyala mu disitulikiti ya Luweero ne Ying. Lilian Nakate Segujja eyaliko yinginiya wa disitulikiti eno. Nabukenya ne Nalwanga bakomyewo okwemala eggayangano sso nga Senkanja ne Ying. Nakate bapya nga bombi ba NRM abalinze akamyufu k’ekibiina.

Omwogezi wa NRM mu Luweero, Sebina Sekitooleko yagambye nti baatudde ne basalawo Nalwanga eyawangula akamyufu ka NRM agende mu maaso n’okwesimbawo era nti alina emikisa mingi okuyitamu kuba abalonzi bamutegeera ne basaba abalala bagumiikirize 2016. Kyokka aba NRM abamu kino tebakisembye nga bagamba nti weetaagayo omuntu omugya anaabagatta n’okwewala okubazza mu buzannyo bwa kkooti.

Ab’ebibiina ebivuganya gavumenti baaganyi okusimbawo omuntu omulala ne beeyama kuwagira Nabukenya. Ssentebe wa FDC mu Luweero, Absolom Bwanika Bbaale yagambye bakkaanyizza okuwagira Nabukenya kuba y’asobola okumegga NRM.

EBIFA KU BAAGALA OKWESIMBAWO

Rebecca Nalwanga: Mutuuze mu Luweero Town Council nga ye nnannyini ssomero lya Pulayimale erya Little Angels e Kasana.

Alina kkampuni etimba ku mikolo n’okukola keeki era Mukristaayo mukuukuutivu. Yakolerako mu bibiina ebirwanyisa siriimu ne pulogulaamu ezikunga okuzaala abaana ab’ekigero. Bino byamufuula ow’ettutumu n’awangula Polof. Victoria Mwaka mu kamyufu ka NRM.

Wabula abawagizi ba Polof. Mwaka baasigala tebamatidde nga bagamba babbibwa mu kamyufu ne kireetawo enjawukana mu bawagizi ba NRM sso ng’abawagizi ba Nalwanga abamu baatandika okumwabulira nga bagamba bwe yatuuka mu palamenti n’afuuka wa waggulu. Bino bw’ogagattako ebisuubizo bya NRM ebitatuukirizibwa omuli obutasasula balwanyi, obwavu, abantu okugobwa ku ttaka byanafuya Nalwanga. Wabula Nalwanga agamba nti ekirungi Nabukenya eyamusuuza entebe bamulozezzaako ne balaba n’agamba akalulu akajja ka kusalawo ani akize ku munne.

Brenda Nabukenya azaalibwa Kibula mu Luweero ng’agugumudde amaka e Bukuma mu Luweero. Abantu bagamba nti ateesa ensonga ezibaluma awatali kutya muntu yenna na kuzibwa mumwa.

Abaagala ekifo ky’omubaka omukazi owa Luweero baweze 4

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....